
Bya Musasi waffe
Kampala
Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Makindye, Irene Nambatya alagidde poliisi okuyimbula omuwandiisi w’ebitabo, Kakwenza Rukirabashaija, eyakwatibwa ab’ebyokwerinda ku bigambibwa nti yavvoola Pulezidenti Museveni ne Gen. Muhoozi Kainerugaba ng’ayita ku mutimbagano.
Ekiragiro kino omulamuzi Nambatya akiwadde Ssaabawolereza wa gavumenti atabaddewo n’ebitongole by’ebyokwerinda olwaleero ku Lwokubiri.
“Mpa ekiragiro nti omukwate ayimbulwe okuva mu mikono gya poliisi era buli mupoliisi alina okugondera ekiragiro kino era tewali kuliyirirwa kwonna kulina kukolebwa.” Omulamuzi Nambatya bw’ategeezezza.
Ekiragiro kino kiweereddwa mu maaso ga munnamateeka wa Kakweza, Eron Kiiza ne Luyimbazi Nalukoola.
Bannamateeka bano bwe babadde bateekayo okusaba kwabwe, bategeezezza nti Kakwenza yakwatibwa okuva mu makaage e Kisaasi nga 28 Desemba 2021 n’okutuusa kati era abooluganda lwe tebakkirizibwa kumulaba ng’amateeka bwegagaba.
Bano bannyonnyodde kkooti nti essaawa ezirigirwa mu mateeka zaggwaako dda kyokka omuntu waabwe tatwalibwanga mu kkooti.
Era bakakasizza kkooti ng’omuntu waabwe bwe yeetaaga obujjanjabi obwamaanyi kuba ebigere bye bizimbye era balowooza nti yatulugunyizibwa kuba mu kiseera kino afuka musaayi.









