• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obufuzi

Kkooti eragidde omubaka Ssewanyana aweebwe obujjanjabi obw’enjawulo

Gambuuze by Gambuuze
January 24, 2023
in Eby'obufuzi
0 0
0
Kkooti eragidde omubaka Ssewanyana aweebwe obujjanjabi obw’enjawulo
0
SHARES
20
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Masaka – Buddu

Kkooti enkulu etuula e Masaka eragidde abakulira amakomera okuwa omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana obujjanjabi obw’enjawulo asobole okutereera, kiyambe omusango gwe okugenda mu maaso.

Omulamuzi wa kkooti eno, Lawrence Tweyanze, ekiragiro kino yakiwadde ku Lwakubiri bweyabadde awulira okusaba kwa Allan Ssewanyana ne Muhammad  Ssegiriinya  okweyimirira ku misango gy’ ebijambiya.

Bano okusaba okweyimirirwa bakuyisizza mu  munnamateeka wabwe Erias Lukwago nga bagamba nti embeera y’ obulamu bwabwe mbi nnyo nga tebasobola kufuna bujjanjabi busaanidde munda mu kkomera.

Lukwago annyonnyodde nti embeera Ssewanyana mwali mbi nnyo nga  tasobodde kujja mu kkooti kuba ali ku kitanda e Mulago gyeyatwalibwa nga ali bubi.

Ono alaze okutya nti embeera y’omuntu wabwe eyinza okwongera okwonooneka.

Munnamateeka wabwe omulala Caleb Alaka ategeezezza kkooti nti kibeera kya bwenkanya okuyimbula ababaka bano bafune obujjanjabi basobole okuvunaanibwa nga bali mu mbeera nnungi.

Bw’abadde awa ensala ye, omulamuzi Tweyanze alagidde abatwala amakomera okuwa Ssewanyana obujjanjabi obw’enjawulo nga bw’alinda okuwulira okusaba kwe okw’okweyimirirwa.

Bannamateeeka wabula beewunyizza omulamuzi  okutegeeza nti babadde bawulira kwanjibwa kwa kusaba kw’okweyimirirwa so si kusaba kweyimirirwa wadde nga kino kibadde kikolebwa ebbanga eriyise.

Omuwaabi wa gavumenti omukulu e Masaka, Richard Birivumbuka, asabye omulamuzi asooke ayimirize emisango gy’obutemu egibavunaanibwa e Masaka basobole okuvunaanibwa emisango gyebalina mu kkooti y’ensi yonna ewozesa obutujju etuula e Kampala.

Bano bagamba nti oludda oluwaabi lutawaanyizibwa okugenda e Kampala ng’ate bwebadda e Masaka wabula kino kyatabudde munnamateeka Lukwago nategeeza nti oludda oluwaabi  lwennyini lwe lwalemesa okugatta emisango gino awamu.

Kati kkooti egenda kutuula nga 13 ne 14 February okulaba oba bano baneeyimiriwa.

Kinajjukirwa nti Ssewanyana ne Ssegiriinya bakwatibwa mu September 2021 n’abalala bataano nebasindikibwa mu kkooti enkulu okuvunaanibwa emisango gy’okutemula abantu 20 mu bijambiya ebyali e Masaka ne Lwengo mu March ne June 2021.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist