Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti enkulu etawulula enkayana ewadde gavumenti wiiki bbiri zokka nga etaddemu okwewozaako ku by’okulemesa bannayuganda abakaweza emyaka 18 okulonda.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/08/Okulonda.jpg)
Kino yakikola nga eggalawookuwandiika abantu mu nkalala z’ebyokulonda mu mwezi gwa December wa 2019 ekintu ekibalemesa okwetaba mu kalulu ka 2021 akabindabinda.
Omulamuzi Musa Ssekaana ali mu musango guno ogwatwalibwayo bannamateeka ba Network of Public Interest Lawyers nga bakuliddwamu Nagami Gloria Linda yalagidde gavumenti okuteekamu okwewozaako.
Bannamateeka bano baagala kkooti elangirire nti ekikolwa ky’okulemesa abavubuka bano okwetaba mukulonda kibajjako eddembe lyabwe eribaweebwa Ssemateeka.
Basaba era kkooti elagire ab’akakiiko k’ebyokulonda balindeko okutuusa nga wabulayo emyezi mukaaga (6) okulonda kutuuke balyoke baggalewo kisobozese abavubuka bonna abagenda okuweza emyaka 18 okulonda kubanga ddembe lyabwe.
Omusango guno leero gubadde gulina okuwulirwa naye omuwolereza wa gavumenti Mark Muwonge nategeeza nti Ssaabawolereza yagutegedde buyise natasobola kuteekamu kwewozaako ekyawalirizza Omulamuzi Ssekaana okugwongerayo okutuuka nga 14 September.