Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti ensukkulumu eyisizza ekiragiro ekiyimiriza ensala ya kkooti etaputa ssemateeka mweyali eragidde kkooti y’amajje okukomya okuwozesa abantu ba bulijjo nga egamba nti kikyamu era ekikontana ne Ssemateeka.
Abalamuzi basatu ku babiri (3: 2) aba kkooti etaputa Ssemateeka omwezi oguwedde bwebaali bawa ensala yabwe mu musango ogwawaabwa abadde omubaka wa Munisipaali ye Nakawa Micheal Kabaziguruka nga awakkanya okumuwozesa mu kkooti eno nga ate si munnamajje.
“Kkooti y’amajje si kitundu ku kitongole ekiramuzi. Eno egwa ku ludda lwa gavumenti olukola ku by’okwerinda by’ eggwanga. N’olwekyo kkooti y’amajje si kkooti nga ezaabulijjo tegwanidde kuwozesa bantu ba bulijjo kuba kikontana n’ennyingo 28 eya Ssemateeka,” Omulamuzi Kenneth Kakuru bwe yategeeza nga awa ensala ye.
Omulamuzi Kakuru yalaga nga abantu abalina okuwozesebwa mu kkooti eno beebo abafugibwa etteeka lya UPDF wabula Ssaabawolereza wa gavumenti teyamatira ku nsala eno era bwatyo najjulira mu kkooti ensukkulumu.
Ku Lwokuna, abalamuzi bataano ba kkooti ensukkulumu nga bakuliddwa Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo bawulidde okusaba kwa Ssaabawolereza mwasabira kkooti eno okuyimiriza ensala ya kkooti ensukkulumu okutuusa nga okujjulira kwe kuwuliddwa.
“Kkooti etaputa Ssemateeka yalagira abantu bonna abasingibwa emisango kkooti y’amajje, emisango gyabwe giddemu okuwulirwa mu kkooti enkulu oba gikolweko mu ngeri kkooti gyenaalaba naye byonna biyimiriziddwa kati,” omukungu okuva mu woofiisi ya Ssaabawolereza bwe yategeezezza.
Ono yannyonnyodde nti woofiisi ya Ssaabawolereza erina ensonga enkulu ezitataanyizibwa era kweyasinziira okujjulira era yeetaaga ebiragiro bya kkooti etaputa Ssemateeka biyimirizibwe.
Bbo bannamateeka ba Kabaziguruka nga bakuliddwa Medard Sseggona bawakkanyizza okusaba kwa Ssaabawolereza nga bagamba nti okuyimiriza ebiragiro ebyasooka kyabadde kya bulabe kuba abawozesebwa mu kkooti y’amajje tebawoleza mu bwenkanya
Oluvannyuma lw’okuwulira enjuyi zombi, abalamuzi baasazeewo okuyimiriza ensala ya kkooti etaputa Ssemateeka okutuusa nga okujjulira kwa Ssaabawolereza kuwuliddwa..
“Ku lw’ obwenkanya, kkooti eno esazeewo okuyisa ekiragiro ekiyimiriza ensala ya kkooti etaputa Ssemateeka. Ekiragiro kino ekiyimiriza kigenda kusigalawo okutuusa nga okujjulira kuwuliddwa,” Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo bwe yawadde ensala ye.