Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti Ensukkulumu eyisizza ekiragiro ekiyimiriza okuteeka mu nkola ebiragiro bya kkooti etaputa Ssemateeka eyalagira abalamuzi bonna ababeera bafunye emirimu emirala mu bitongole bya gavumenti okusooka okulekulira.
Ensala eno yaddirira, munnamateeka kati omugenzi Robert Kasango okuddukira mu kkooti ng’awakanya eky’abalamuzi okulondebwa mu woofiisi endala yonna nga tebasoose kulekulira kuba kino kivvoola Ssemateeka gwe balina okukuuma.
Ekiragiro kino kyakosa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Omulamuzi Simon Byabakama, Ssaabawaabi wa gavumenti Jane Frances Abodo n’akulira akakiiko k’ekitongole ekiramuzi, Benjamin Kabiito era bano kkooti yalaga nti woofiisi ze balimu bazirimu mu bukyamu.
Wabula kitegeerekese nti ku Lwokuna abalamuzi bataano aba kkooti Ensukkulumu nga bakuliddwamu Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, Stella Arach-Amoko, Rubby Aweri Opio, Paul Mugamba ne Ezekiel Muhanguzi, batudde ne bayimiriza ekiragiro kya kkooti etaputa Ssemateeka olw’okujulira kwa Ssaabawolereza wa gavumenti.
“Olwokuba waliwo okujulira okwaleeteddwa mu kkooti, tuyisizza ekiragiro ekiyimiriza okuteeka mu nkola ebiragiro bya kkooti etaputa Ssemateeka. Bino bigenda kuyimirira okutuusa ng’omusango guno guwuliddwa.” Omulamuzi Mugamba eyasomye ekiragiro kino ku lwa banne bwe yagambye.
Kino kitegeeza nti wadde omulamuzi Byabakama, Ssaabawaabi Jane Frances Abodo n’akulira akakiiko k’ekitongole ekiramuzi, Benjamin Kabiito, baali balagiddwa okudda ebbali, kati baakudda mu woofiisi okutuusa ng’okujulira kuno kuwuliddwa.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/03/96759_ZAF20190525MUSEVENIAP_1610805918239.jpg)
Ensala eno, eraga nti Pulezidenti Museveni akkiriziddwa okugenda mu maaso n’okulayira mu May olw’ensonga nti akulira akakiiko k’ebyokulonda azzeeyo ku mirimu.
Mu mwaka gwa 2016, Kasango yatwala Ssaabawaabi wa gavumenti ne Ssaabawolereza mu kkooti etaputa Ssemateeka ng’agamba nti kyali kimenya amateeka wamu n’okuyisa olugaayu mu kitongole ekiramuzi era nga kikontana n’ennono y’okwawula obuyinza mu masiga ag’enjawulo agakola gavumenti.
Ku ntandikwa y’omwaka guno, kkooti etaputa Ssemateeka yakakasizza nti kituufu kino kimenya amateeka era ng’abalamuzi okutwala ebifo ebirala nga tebasoose kulekulira gya bulamuzi, tekikkirizibwa.
“Nkyeraga nti abalamuzi bakyalondebwa mu bifo eby’enjawulo mu gavumenti n’ekitongole ekiramuzi. Ekitongole ebikwatibwako naddala akakiiko akagaba emirimu mu kitongole ekiramuzi balina okukakasa nti omulamuzi bw’aba tannaweebwa mulimu mulala asoose kulekulira.” Omulamuzi Kenneth Kakuru bwe yalamula ku lwa banne.
Ekirindiriddwa kwe kuwulira okujulira okwateereddwayo Ssaabawolereza wa gavumenti wamu n’okulinda ekinaavaayo.