Bya Musasi Waffe
Kampala
Kkooti Ensukkulumu mu Kampala ekkiriza akulira ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Unity Platform Robert Kyagulanyi, amanyiddwa nga Bobi Wine okuggyayo omusango gwe yali yawaaba ng’awakanya okulondebwa kwa Pulezidenti Museveni mu kalulu ka 2021.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/03/Bobi-winw.png)
Kino kiddiridde Kyagulanyi okusaba kkooti ekkirize okuggyayo omusango gwe yali yawaaba ng’agamba nti kkooti yali eremeddwa omuteerawo embeera ey’obwenkanya emusobozesa okuwangula omusango guno.
Oluvannyuma lw’okuwulira enjuyi zombi leero ku Lwokutaano, abalamuzi ba kkooti eno omwenda, nga bakulembeddwa Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo bakkiriza Kyagulanyi okuggyayo omusango guno.
“Olw’ensonga nti abawawaabirwa tebawakanyizza kuggyayo musango guno, okusaba kw’omuwaabi kukkiriziddwa. Omusango gugyiddwayo.” Omulamuzi Stella Amoko Arach bw’asomye ensala yaabwe ku lw’abalamuzi abalala. Abalamuzi bategeezezza nti bagenda kuwa ensala yaabwe mu bujjuvu gye bujjako ku nsonga eno.
“Ensonga zaffe wamu n’ekisaliddwawo ku nsonga y’okuliyirira byonna bigenda kuteekebwa mu nsala y’omusango guno ezijuvu. Ensala eno ku kuggyayo omusango guno eteereddwako emikono gy’abalamuzi bonna aba kkooti eno.” Amoko bw’agasseeko
Kino kitegeeza nti Pulezidenti Yoweri Museveni asuliridde kulayizibwa nga Pulezidenti Omulonde era alinze mwezi gwa May kuba tewali muntu yenna awakanya buwanguzi bwe.