
Musasi waffe
Kkooti enkulu mu Kampala eraze olwa Apuli 14 nga lwenaawulirirako okusaba okw’okweyimirirwa kwa munnamajje Lt. Gen. Henry tumukunde.
Ono yasindikibwa mu kkomera e Luzira wiiiki ewedde ku misango gy’okusangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka wamu n’okulya munsiye olukwe.
Omulamuzi Wilson Kwesiga alagidde bannamateeka ba Tumukunde okuwa aba gavumenti empaaba yabwe nabo baanukule omwezi guno nga tegunnagwako era kkooti yakutuula bano ensonga zaabwe bazisse mu maaso g’omulamuzi.
Tumukunde eyali minisita avunanyizibwa ku by’obutebenkevu, ku nkomerero y’omwezi oguwedde yalangirira nga bweyali agenda okwesimba kweyali mukamawe Gen. Yoweri Kaguta Museveni ku bwa pulezidenti bw’eggwanga.
Ono yatambula ku mikutu gy’empuliziganya ez’enjawulo nga annyonyola lwaki Museveni ateekeddwa okuwummula.
Ab’ebyokwerinda tebaamulinze nebamukwata yogaayoga mu kkooti nayo eya musindika e Luzira.
Omulamuzi Kwesiga era yalagidde nti fiyiro ya Tumukunde ejjibwe ku kkooti ya KCCA etwalibwe ku Buganda Road, ng’agamba nti eno gye basobola okuwuliriza omusango gwe ng’ali Luzira nga bakozesa ebyuma bikalimagezi.