Masaka
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Moses Kazibwe Kawumi yagobye omusango gwa ssentebe wa disitulikiti y’e Masaka Jude Mbabali mw’awakanyiza ebiragiro bya Minisita wa gavumenti ez’ebitundu ebyafulumizibwa okutambulizibwako ebibuga.
Kawumi yategeezezza ku Lwokubiri nti kkooti yabadde tesobola kugenda mu maaso nakuwulira musango guno kubanga ebimu ku bintu Mbabali by’awakanya byabadde tebikyasoboka kubanga ebibuga bino byatandika dda okukola ate nga n’etteeka erifuga gavumenti ez’ebitundu (Local Governments Act 2020) lyakolebwamu enoongosereza.
Mbabali yali ng’ali wamu n’abalala kkumi n’omu baddukira mu kkooti nga bagisaba esazeemu ebiragiro Minisita Magyezi bye yali afulumizza mu mwezi Gwomukaaga nga bagamba nti bikontana n’etteeka lya gavumenti ez’ebitundu.
Bano era baawakanya n’ekiragiro ky’okusuumusa bammeeya ba munisipaali ezaafuulibwa ebibuga okulembera ebibuga bino nga tebasoose kugenda mu kalulu, kye bagamba nti kino nakyo tekyali kituufu.
Omuwolereza wa gavumenti Hillary Ebila yategeezeza kkooti ng’omusango guno bwe gwabadde gutakyalimu makulu kuba ensonga ze yali awakanya zaagonjoolwa mu nnongoosereza ezaakolebwa mu tteeka lya gavumenti ez’ebitundu eza 2020.
“Ennongoosereza mu tteeka lya gavumenti ez’ebitundu erya ‘local government (Amendment) Act 2020’ Pulezidenti Museveni yaliteekako dda omukono era nga Ebitundu okuli; 181 ne 187 ebyali bikontana ne tteeka lya gavumenti ez’ebitundu lyakolebwamu ennoongosereza ate ekitundu nnamba 12 kyaggyawo ekifo kya sipiika n’omumyuka mu bibuga bino kasuulibwa ebbali,” Ebila bwe yagambye n’asaba kkooti omusango egugobe kuba temuli makulu.
Bweyawadde awa ensala ye Omulamuzi Kazibwe yategeezezza ng’omusango guno bwe gwabadde teguliimu nsa era bw’atyo n’agugoba.
Omulamuzi Kazibwe yagambye nti ebimu ku biragiro Mbabali byawakanya byali bikoleddwamu enkyukakyuka ate nga n’akakiiko k’ebyokulonda nako akabadde ku baawawaabirwa kali mu kutegeka kulonda mu ggwanga nga n’ebibuga bino mw’obitwalidde.
Munnabyabufuzi Godfrey Kayemba Afaayo yasanyukidde ensalawo eno n’ategeeza nti omuwaabi teyalinamu nsonga kuwakanya bibuga bino okuggyako okwagala okweyagaliza.
Ebibuga bino Mbabali bye yabadde awakanya kuliko; Masaka, Mbarara, Gulu, Lira, Mbale, Jinja, Hoima, Soroti, Fort portal ne Arua.
Bya URN