
Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti enkulu mu Kampala egaanye obujulizi bw’omusajja Abubaker Kalungi agambibwa okwetaba mu ttemu lya Afande Muhammad Kirumira ng’ono yeyali adduumira poliisi ye Buyende.
Kirumira yatemula n’amasasi bweyali ne muganzi we, Resty Nalinya ku ssaawa 2 ez’ekiro e Bulenga Wakiso nga September 8, 2018. Kigambibwa nti ono yewaako obujulizi mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ento nakakasa nti yali mu ttemu lino.
Omulamuzi ono ng’erinnya lisirikiddwa yategeeza kkooti enkulu nti Kalungi yaleetebwa mu woofiisi ye nga yeyagalidde era nakola Sitatimenti era bweyabuuzibwa olulimi lwasinga okutegeera nalondawo oluganda.
Omulamuzi ono yategeezezza kkooti nti wadde sitatimenti Kalungi yagikola mu luganda naye bagiwandika mu luzungu era ono wano weyakakasizza nga bweyali apangisiddwa Abdul Kateregga nga naye avunaanibwa okulinnya Kirumira akagere era yeyalaba weyali ku lunaku lwattibwa e Bulenga.
Okusinziira ku Sitatimenti kiraga nti Kalungi olwalaba Kirumira yayita Kateregga eyajja n’omusajja omulala nga bali ku Pikipiki nga balina emmundu era bwatyo navaayo, wano kyeyaddako okuwulira gaali masasi.
Wabula bweyali alabiseeko mu kkooti enkulu omwezi oguwedde, Kalungi yegaana okwewaako obujulizi bw’okwetaba mu kutta Kirumira ng’oludda oluwaabi bwelutegeeza.
Kalungi nga akola gwabubazzi, agamba nti yakwatibwa ali Hoima naleetebwa ku kitebe kya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) e Kireka nebamutulugunya n’okumukaka ateeke omukono ku biwandiiko webyenjawulo. Nagattako nga Sitatimenti eyogerwako bwebatagikolera mu woofiisi y’omulamuzi wa Buganda Road.
Kkooti enkulu era ekitegedde nti Kalungi teyasoma era tategeera luzungu era wano omulamuzi Margret Mutonyi wasinzidde nagoba obujulizi buno nga agamba nti yalina okuwandiikibwa mu lulimi omuvunaanwa lwategeera.
Munnamateeka wa Kalungi, Zimbe Zefania yasanyukidde eky’ Omulamuzi okugoba obujulizi buno kuba bwabadde bupange.
Omusango guno gwakuddamu okuwulirwa nga Novemba 30 era wano oludda oluwaabi lusuubirwa okuleeta omujulizi omulala.









