Bya Betty Namawanda
Rakai – Kooki
Amyuka omuwandiisi wa kooti enkulu e Masaka, Dr. Agnes Nkonge, ayisizza ekiragiro ekiyimiriza enjuyi zombi ezibadde zikaayanira ettaka erisangibwa ku byalo 2 okuli Kyakago ne Kasese mu ggombolola y’e Kibanda mu Rakai, esobole okutunula mu nsonga eno.
Enkaayana zino ziri wakati w’abatuuze abawerera ddala 2000 n’abantu basatu abagambibwa nti bakozesebwa munnamagye Captain Godfrey Kalamuzi okutwala ettaka lino eriwerako yiika 600.
Kino kiddiridde Omulamuzi wa kkooti ento e Rakai, Patrick Kityo, okuwa olukusa Fred Kazungu, Erias Ndawula ne Emmanuel Gakwandi, okwerula empenda ku ttaka lino oluvannyuma lw’okukizuula nti lyabwe, wadde ng’abatuuze kino bakiwakanya.
Kigambibwa nti abayerula empenda baatandika okugobaganya abatuuze ku bibanja byabwe era bakozesa poliisi okubakubamu omukka ogubalagala.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Sseruyima Twaha, Ntale Jessy ne Ssentaayi Mudasiru, nga bayita mu munnateeka waabwe Waduka Marufu, baddukira mu kkooti enkulu e Masaka nga bawakanya ensala y’omulamuzi ssaako n’ababagobanya ku ttaka era nga baagala kkooti esale eggoye ku musango guno.
Bano baawaabira abantu ab’enjawulo okuli; Gakwandi Emmanuel, Ndawula Erias, Kazungu Fred, Rakai district land board, Commissioner land registration.
Amyuka Omuwandiisi wa kkooti eno, Dr Agnes Nkonge, asisinkanye enjuyi zombi era oluvannyuma alagidde buli kibadde kukolebwa ku ttaka lino okuyimirira, embeera esigale nga bwe yali okutuuka ng’omusango guno gusaliddwa.
Ye omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Rakai, Juliet Ssuubi Kinyamatama, asinzidde ku kkooti e Masaka ne yeewuunya enguzi eyeetobese mu nsonga y’okwagala okusengula abatuuze nga tetalizza muntu yenna omuli abaserikale n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo.
Mu ngeri y’emu, munnamateeka w’abatuuze, Waduka Marufu, akakasizza nga kkooti bw’ebawadde ekiragiro ekiyimiriza ebintu byonna ebibadde bikolebwa ku ttaka lino era n’ategeeza nti omusango guno gwakutandika okuwulirwa mu kkooti enkulu e Masaka nga 7 / 06/ 2020.