![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/08/NRM-.png)
Bya Musasi Waffe
Kampala
Kkooti enkulu mu Kampala egobye okusaba kwa Munna NRM Moses Banalekaki, eyali yasaba kkooti okuyimiriza okulonda kwa NRM mwebanoonyeza abanatuula ku kakiiko ak’okuntiko (CEC).
“Kkooti eno tematidde nampaba esaba kkooti okuyimirizza okulonda kwa NRM okwa CECE era bwekutyo kugobeddwa,” Omulamuzi Emmanuel Baguma bweyategeezezza leero ku Mmande
Kinajjjukirwa nti Banalekaki yaddukira amu kkooti nga awakanya eky’ebifo ebimu naddala ebya ’Special Interest Groups’ okugaanibwa okusunsulwa nasaba kkooti eyimirize okulonda kuno.
Ekibiina ki NRM kitegese okulonda abamu ku bakulu ku kakiiko ak’okuntiko (CEC) enkya nga 18/08/2020 .
Ebifo ebigenda okulondebwamu abantu kuliko Ssentebe w’ekibiina mu ggwanga lyonna, Omumyuka we asooka n’owookubiri n’abamyuka abalala okuva mu North, East, West, Central, Kampala ne Karamoja.
Banelakaki yategeezza kkooti nti abeesimbyewo ku bifo ebyo waggulu be bokka abasunsulwa, ebirala omuli eky’abavubuka nga kyayagala nebirekebwa ebbali awatali kuwa nsonga yonna.
Ono yasaba kkooti eyise ekiragiro ekiyimirizza okulonda kuno okutuuka nga omusango gwe guwul ekintu kkooti kyegaanye.
Ekibiina ki NRM kyateegezezza nga okulonda okwategekeddwa bwekuli okwa bantu bokka abalondebwa obutereevu okutuula ku CEC era nga omuwaabi ku bino talina kyeyasaba kwesimbako.