Bya Betty Namawanda
Masaka -Buddu
Kkooti e Masaka eggulo yatandise okuwulira emisango egyajulira mu kkooti Enkulu okuva mu bitundu by’eMasaka n’emiriraano, kisobozese bannabuddu okufuna obwenkanya era guno gwe mulundi ogusoose kkooti eno okutuula mu Masaka.
Okusinziira ku bakungu mu kitongole ekiramuzi e Masaka, emisango 41 gye gigenda okuwulirwa mu lutuula luno era nga ku gino kuliko egy’obutemu, obwakkondo, okukwata abakazi, okukabassanya amabujje wamu n’emisango emirala.
Emisango giwuliddwa mu nkola eya Zoom okusobola okwewala okusaasaanya kw’ekirwadde kya Covid 19 ekikyali mu ggwanga.
Omumyuka wa Ssaabalamuzi, Richard Buteera ne banne, baasoose kulambula kkomera ekkulu e Masaka ne balaga okunyolwa olw’omujjuzo oguli mu makomera wabula ne basuubiza okukwatagana n’abakwatibwako okukola ku kizibu kino singa embeera eyaleetebwa Corona enaaba eteredde.
Ono era yasinzidde wano ne yennyamira olw’omuwendo gw’abalamuzi omutono ddala mu kkooti eno kuba abalamuzi abagirimu bali 14 bokka kyokka nga balina okuweereza eggwanga lyonna, ekintu ekikungira abantu okufuna obwenkanya mu budde.
Buteera yasabye Pulezidenti Yoweri Museveni wamu ne Palamenti okutunula mu nsonga eno kikendeeze ku misango egikandaalirira.