• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kkooti egobye ogwa People Power obutabeera mpandiise

Gambuuze by Gambuuze
April 27, 2021
in Amawulire
0 0
0
Kkooti egobye ogwa People Power obutabeera mpandiise
0
SHARES
90
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John
Kampala

Kkooti etaputa Ssemateeka mu Kampala egobye omusango ogwali guwakanya ekisinde kya People Power ekikulirwa Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, okukolera mu ggwanga nga si kiwandiise mu mateeka agafuga ebibiina by’ebyobufuzi.

Leero ku Lwokubiri, abalamuzi 4 aba kkooti eno okuli; omumyuka wa Ssaabalamuzi Richard Buteera, Kenneth Kakuru, Catherine Bamugemereire ne Irene Mulyagonja, bategeezezza nti kkooti eno terina buyinza kuwulira musango nga guno era bwebatyo ne bagugoba.

“Omuwaabi teyeesigama ku nnyingo 50 ng’aleeta omusango gwe era ne mu mpaaba ye tagisiinyaako. Noolwekyo mu ndaba yange omusango guno gwalina kuwaabwa omuntu ng’agoberera ennyingo eyo era gwalina kutwalibwa mu kkooti enkulu si wano.” Omulamuzi Mulyagonja bw’asomye ensala ye.

Abalamuzi abalala okuli; Richard Buteera, Kenneth Kakuru ne Catherine Bamugemereire nabo bakkaanyiza ne Mulyagonja wadde ng’omuwaabi tebamulagidde kuliyirira bawawaabirwa.

Wabula Omulamuzi Christopher Mandrama ayawukanye ku banne n’agamba nti kyali kikyamu Kyagulanyi okutambuliza emirimu gye mu People Power omwali n’okuvujjirira abantu okuvuganya ate ng’ekibiina kino si kiwandiise mu mateeka.

Mu mwaka gwa 2019 munnayuganda Aden Rutaro Ntare, yatwala Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine mu kkooti awamu n’eyali Pulezidenti wa Forum for Democratic Change (FDC), ng’abavunaana okukulembera ebisinde bino ebitali biwandiise mu mateeka.

Rutaro yagamba nti Kyagulanyi y’akulira People Power ng’olumu beeyita ‘People Power-Uganda’ oba ‘People Power’ n’ekigendererwa ky’okuwa abantu akadaala basobole okuvuganya mu bifo ebyenjawulo.

Ate ye Dr. Besigye, Rutaro yamuvunaana kutondawo People’s Government’ eyeefaananyiriza gavumenti eri mu buyinza, ekintu ky’agamba nti kikkirizibwa bibiina byabufuzi ebiwandiise mu mateeka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist