Bya Francis Ndugwa
Kampala
Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Mmengo, Esther Nsambu, agobye okusaba kwa munnakibiina kya National Unity Platform (NUP), Fred Nyanzi Ssentamu kwe yateekayo ng’ayagala akalulu kaddemu okubalibwa.
Nyanzi yaddukidde mu kkooti ng’alumiriza akakiiko k’ebyokulonda okukwatagana n’Omubaka Muhammad Nsereko ne bakwata mu kalulu era Nsereko n’alangirirwa ku buwanguzi bw’omubaka wa Kampala Central kyatakkaanya nakyo.
Bw’abadde awa ensala ye omulamuzi Nansambu agambye nti Nyanzi yeesigama ku bigambo obugambo okutali bujulizi n’addukira mu kkooti ng’asaba obululu buddemu okubalibwa.
Ono agambye nti kkooti ye terina buyinza kuddamu kusaba kwa Nyanzi bw’atyo omusango n’agugoba era n’alagira Nyanzi aliyirire Nsereko ssente z’asaasaanyizza mu musango guno.
Okusinziira ku byava mu kalulu, Omubaka Nsereko yafuna obululu 16,998 ate Nyanzi n’afuna 15,975.
Mu mpaaba ye Nyanzi yategeezezza nti okulonda kwonna wamu n’okubala obululu kwalimu emivuyo era gino gyakolebwa kakiiko ka byakulonda awamu ne baagenti ba Nsereko.
Ono agamba abantu be abalina okulondoola akalulu kano baaganibwa okutuuka mu bifo ebimu ebironderwamu.
Ono agamba nti emivuyo okusinga gyali mu bifo ebironderwamu omuli; Summit View, Nakasero 1 ne 2, Hoima Flats awamu n’awalala. Nyanzi yannyonnyodde nti olw’okuba abamu ku baagenti be baagobwa mu bifo ewalonderwa, baalemwa okuteeka emikono ku mpapula okwalangirirwa ebivudde mu kulonda n’omuwanguzi.
Nyanzi yategeezezza kkooti nti baagenti ba Nsereko bajingirira empapula z’ebivudde mu kalulu era ne basaanyaawo kkopi entuufu awamu ne vvulugu omulala mungi.
Wano we yasinzidde n’asaba kkooti ekkirize obululu buddemu okubalibwa naddala obwo obwakubwa ku Balikuddembe Primary School, KCC Primary School, Seroma Parking Yard, All saints, Martin Road, Old Kampala SS, National Theatre, Nakivubo Road, Basajjabala Taxi Park, Kampala Library, Bombo Road awamu n’ebifo ebirala, kkooti ky’egaanye.