Bya Ssemakula John
Kampala
Omulamuzi omukulu owa kkooti esookerwako eya Buganda Road, ayisizza ebibaluwa bibakuntumye ebipya ku mubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya okulabikako mu kkooti eno yeewozeeko ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu.
Omulamuzi Marion Mangeni y’afulumizza ebibaluwa bino n’alagira Ssegirinya okulabikako nga October 20.
Okusinziira ku ludda oluwaabi, omubaka Ssegirinya ng’ali wamu n’abalala abakyalya obutaala, baakuma omuliro mu bantu nga March 22 nga bali ku Mini Price mu Kampala nga kino baakikola bakutte ebipande ebiwakanya obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni nga bagamba nti omuwanguzi omutuufu owa kalulu ka 2021 yali Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine.
Ssegirinya era avunaanibwa omusango gw’okukuma omuliro mu bantu bwe yasangibwa n’ebipande ng’abanja gavumenti okuyimbula bannakibiina kya National Unity Platform abaasibibwa mu makomera ag’enjawulo.
Bino we bijjidde nga Ssegirinya wamu n’omubaka wa Makindye West, bakyattunka n’emisango gy’okutemula abantu mu Masaka era baali baasindikibwa ku alimanda gye babadde bamaze wiiki nnamba, wadde baasobodde okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti ku Mmande.
Omubaka Ssegirinya y’omu abadde yaakamala okufuna obuweerero oluvannyuma lwa kkooti enkulu okugoba omusango gwa Sulaiman Kidandala eyabadde awakanya obuwanguzi bwe ku bubaka bwa Palamenti ng’agamba nti talina bitabo.
Omusango guno kkooti yagugobye ng’egamba nti Kidandala yalemererwa okuwa Ssegirinya empapula eziraga nti amuwaabidde mu buntu.