• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Uncategorized

Kkooti efulumizza ebibaluwa ebipya ku Ssegirinya

Gambuuze by Gambuuze
September 22, 2021
in Uncategorized
0 0
0
Kkooti efulumizza ebibaluwa ebipya ku Ssegirinya
0
SHARES
138
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Omulamuzi omukulu owa kkooti esookerwako eya Buganda Road, ayisizza ebibaluwa bibakuntumye ebipya ku mubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya okulabikako mu kkooti eno yeewozeeko ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu.

Omulamuzi Marion Mangeni y’afulumizza ebibaluwa bino n’alagira Ssegirinya okulabikako nga October 20.

Okusinziira ku ludda oluwaabi, omubaka Ssegirinya ng’ali wamu n’abalala abakyalya obutaala, baakuma omuliro mu bantu nga March 22 nga bali ku Mini Price mu Kampala nga kino baakikola bakutte ebipande ebiwakanya obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni nga bagamba nti omuwanguzi omutuufu owa kalulu ka 2021 yali Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine.

Ssegirinya era avunaanibwa  omusango gw’okukuma omuliro mu bantu bwe yasangibwa n’ebipande ng’abanja gavumenti okuyimbula bannakibiina kya National Unity Platform abaasibibwa mu makomera ag’enjawulo.

Bino we bijjidde nga Ssegirinya wamu n’omubaka wa Makindye West, bakyattunka n’emisango gy’okutemula abantu mu Masaka era baali baasindikibwa ku alimanda gye babadde bamaze wiiki nnamba, wadde baasobodde okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti ku Mmande.

Omubaka Ssegirinya y’omu abadde yaakamala okufuna obuweerero oluvannyuma lwa kkooti enkulu okugoba omusango gwa Sulaiman Kidandala eyabadde awakanya obuwanguzi bwe ku bubaka bwa Palamenti ng’agamba nti talina bitabo.

Omusango guno kkooti yagugobye ng’egamba nti Kidandala yalemererwa okuwa Ssegirinya empapula eziraga nti amuwaabidde mu buntu.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
Tags: Allan SsewanyanaBuganda CourtMuhammad Ssegiriinya
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist