Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka -Buddu
Omulamuzi wa kkooti y’e Masaka Uthur Ziraba leero ku Lwokubiri egobye emisango egibadde givunanibwa abakulembeze n’abawagizi b’ekibiina kya NUP mu Masaka. Bano okuli; Florence Namayanja, Evans Kanyike, Juliet Kakande, Abed Bwanika n’abawagizi baabwe bali baakwatibwa mu Novemba w’omwaka oguwedde nebaggulwako omusango gw’okwetaba mu bikolwa ebiyinza okusaasaanya COVID-19.
Kino kyaddirira bano okukwatibwa nga bakung’aanye oluvannyuma lwa Pulezidenti waabwe, Robert Kyagulanyi, okukwatibwa e Luuka mu Busoga bwe yali anoonya akalulu. Bano abasoba 50 babadde balabikako mu kkooti wabula nga abapoliisi abalina okubawaako obujulizi nga tebalabikako.
Bwekityo ne leero abajulizi tebalabiseeko era wano munnamateeka w’abawawaabirwa, Alexander Lule, kwe kusaba omulamuzi omusango guno agugobe.
Wabula omuwaabi wa gavumenti, Caroline Opio, ategeezezza nga bwali omupya mu musango guno era nga yeetaagayo akadde.
Omulamuzi Ziraba ategeezezza nti abajulizi okuli omuduumizi wa poliisi mu Masaka, Enock Abaine wamu n’eyakola okunnoonyereza bamanyi bulungi obuvunaanyizibwa bwabwe kyokka baasalawo obutalabikako eri kkooti era omusango n’agugoba.
Wabula annyonnyodde ng’abawaabi bwe balina eddembe okuddamu okuttusa omusango guno bwe baba baagadde.
“Ekyewuunyisa RPC w’e Masaka, Enock Abaine, awaaba emisango gino tajjangako mu kkooti kyokka ate nga bulijjo abeerawo mu misango emirala era nga ne mu Masaka mwali.” Bw’atyo munnamateeka Lule bw’agambye.
Abamu ku bejjeerezeddwa okuli Kanyike Evans omubaka omulonde owa Bukoto East ne Juliet Kakande omubaka omukyala omulonde owa Masaka City, bategeezezza nga kuno bwe kubadde okubamalira obudde ne basanyukira eky’omulamuzi okugugoba.