
Bya Musasi Waffe
Gomba
Kitunzi William Mugabi akubirizza abakulembeze mu buweereza naddala obwa Buganda okwagazisa be baweereza obuweereza.
Obubaka buno Owek.Mugabi abuweeredde mu musomo ku nzirukanya y’emirimo mu Ggombolola Ssaabawaali Kyengonza bw’abadde aguggulawo ku Lwokuba.
Kitunzi Mugabi agambye nti omukulembeze omulungi yooyo ayagazisa abalala obuweereza, akwanaganya obulungi obuweereza n’ensonga endala, alina obwagazi mw’ebyo byakola, Omwerufu, omuyiiya, omunnyiikivu era akola obuteebalira.
Owek. Mugabi yeebazizza nnyo Abantu ba Ssaabawaali Kyengonza olw’obuwagizi eri emirimu n’enteekateeka z’essaza era n’abayita okubeerawo mu bungi ng’30/11/2024 nga Katikkiro abatuuza mu buweereza.
Omulezi w’essaza Gomba, Mw. Kasirye Dennis yeebazizza nnyo abaweereza ba Ssaabasajja Kabaka olw’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka nga bayita mu nteekateeka ya Luwalo lwaffe bwatyo naabasaba obutakoowa.
Kasirye abakubirizza okunyweza omukwano mu buweereza okusobola okukuuma obumu n’obuwulize eri Nnamulondo.
Asabye abantu okukola ennyo emirimo gy'Obwakabaka nga tebeebalira kwossa n'egyabwe okusobola okwewanirira kyokka n'okuwanirira Nnamulondo.
Omusomo gwetabiddwamu Omumyuka wa Kitunzi asooka Mw. Ddamulira Patrick, Omuteesiteesi w’emirimo ku Ssaza awamu n’abaseesa.