Bya Ssemakula John
Kawaala
Abagoberezi b’ekkanisa ya Revival Church e Kawaala, bakeeredde mu kiyongobero olw’amawulire g’okufa kw’Omusumba Augustine Yiga amanyiddwa nga Abizzaayo eyafudde mu kiro ky’eggulo ku Mmande.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/10/Ek_8_ZBXYAIReH-680x375-1.jpg)
“Atuvudde ku maaso, omwoyo gwe Omukama agulamuze ekisa era amuwe ekiwummulo eky’emirembe.” Obubaka ku mukutu gwa kkampuni ya ABSTV ogwa Facebook bwe bw’ategeezezza.
Omusumba Yiga yaddusibwa mu ddwaliro e Nsambya ng’atawaanyizibwa ekibumba.
Oluvannyuma lw’okufuna amawulire gano, abagoberezi ba Yiga bakung’aanidde ku kkanisa eno okusobola okukungubaga.
Bino we bijjidde nga ku Lwokutaano lwa Ssabbiiti ewedde, abantu abamu baatambuza amawulire g’okufa kw’Omusumba ono wabula omukutu gwe ogwa ABS TV gwavaayo ne guwakanya amawulire gano.
Omusumba Yiga egimu ku mirimu gy’ekkanisa yali yagikwasa mutabani we, Andrew Jjengo era nga w’afiiridde ng’ono y’asumba endiga z’ekkanisa eno.
Okufa kwa Paasita Yiga we kujjidde nga waakayita emyezi ettaano ng’ayimbuddwa okuva mu kkomera oluvannyuma lw’okukwatibwa n’asindikibwa mu kkomera olw’okutegeeza nti mu Uganda temuli kirwadde kya Ssennyiga Corona.
Yiga yategeeza bannamawulire nti obulwadde obuli mu Africa ye Lubyamira aludde ng’atawaanya abaddugavu.