Bya Ssemakula John
Kayunga – Bugerere
Omukiise mu lukiiko lwa Buganda era ssentebe wa disitulikiti ye Kayunga, Muhamad Ffeffeka Sserubogo afudde.
Sserubogo asangiddwa enkya ya leero ku Lwokusatu nga alengejjera ku muti gwa ffene nga kiteeberezebwa okubeera nti yetuze wadde abamu ku batuuze kino bakiwakanya.
Ono abadde munnakibiina kya National Unity Platform (NUP) ekikulirwa Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine.
Ekibiina kye kimwogeddeko nga omusajja omumalirivu era nga amawulire g’okufa kwe gabakubye wala era nekitegeeza nga musajja wabwe bwayinza okuba nga yatemuddwa kuba abadde aludde nga alwanyisa ekibbattaka n’enguzi.
Abamu ku batuuze abasoose ewabadde omulambo gwa Sserubogo basabye poliisi ennoonyereze ku kituufu kuba si bamativu n’enfa ye nga bagamba nti ayinza okuba nga yasoose kuttibwa.
“Omugenzi abaddenga atambula n’omuggo gwe naye tegulina weguli ate n’omuntu eyeetuze nga yalinnye muti nasibayo omuguwa tayinza kuba nga ekkanzu ye etukula bweti,” Omu ku batuuze atayagadde kumwatula mannya bw’agambye.
Ate ye akulira ekibiina kya NUP mu ttundutundu lye Mukono, Omubaka Betty Nambooze Bakireke ayogedde ku mugenzi nga abadde omuwulize eri Ssaabasajja Kabaka akaseera konna era nasaasira Obuganda ne bannamukono olw’okufa kwe.
Kitegeerekese nga omugenzi wafiiridde nga abeera ne muganda we mu Mukono wadde nga abadde alina amaka mu disitulikiti ye Kayunga.