Bya Gladys Nanyombi
Kampala
Omuvuzi wa Boodabooda Emmanuel Kabanda eyeeyokera ku poliisi e Kireka oluvannyuma lw’abapoliisi okugaanira ppikipiki ye ng’agamba nti baali baagala ssente ze yali talina afudde.

Kabanda yafudde kiro ekyakeesezza Olwaleero era okusinziira ku w’oluganda lwe yafiiridde mu ddwaliro e Kiruddu gye yabadde addusibwa okujjanjabwa oluvannyuma lw’okwekumako omuliro.
“Tubadde mu ddwaliro e Kiruddu nga Kabanda ali mu mbeera mbi nnyo netugeezaako okukwatagana ne poliisi etufunire ku ssente z’obujjanjabi naye netulemererwa era atuuse okufa nga tetufunye buyambi bwonna,” bw’atyo Onumu bwe yategeezezza.
Onumu akyalumirizza ng’entabwe bwe yava ku atwala poliisi eno okusaba Kabanda emitwalo 10 gy’atalina wadde nga poliisi yakakasa nga bwe bali bamulagidde okudda ppikipiki aginone enkeera oluvannyuma lw’okugikwata ng’emenye ebiragiro bya COVID-19.
Ono ye wa boodabooda owookubiri okufa oluvannyuma lw’okwekumako omuliro nga babanja ppikipiki zaabwe ng’eyasooka yali Hussein Walugembe eyeeyokeza ku poliisi e Masaka era n’afiirawo.
Ku nsonga eno, amyuka Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire yategezeeza nti, bamaze okukwata basajja baabwe mukaaga abaali ku mulimu ku lunaku olwo babayambeko mu kunoonyereza ku kituufu ekyaliwo.
Owoyesigire yagambye nti poliisi omulambo egenda kuguggyayo e Kiruddu egutwale e Mulago gusobola okwekebejjebwa.
Ate ye ssentebe w’abavuzi ba boodabooda mu Kira Bosco Buziba asabye banne okukendeeza ku busungu era n’alaajanira Pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga eno kubanga bannaabwe baggwaawo.
Onumu yalaze nga bwe balinze poliisi okubawa omulambo gwa Kabanda n’oluvannyuma gutwalibwe mu disitulikiti y’e Kamuli gye gugenda okuziiikibwa.








