
Bya Ssemakula John
Lufuka – Makindye
Ebitalo bigudde e Ndejje Lufuka mu Munisipaali ye Makindye Ssaabagabo mu zzooni emanyiddwa nga Shell, kalina bwegudde nekuba ennyumba ezigyetolodde era okukkakana ng’esse abantu abaweze bataano omuli n’abaana.
Akabenje kano kaguddewo ku ssaawa ng’emu n’ekitundu era kalina eno ebadde yakamala okuserekebwa era wetukoledde eggulire lino ng’ emirambo 4 gyegimaze okugyibwayo mu bifunfugu.
Kansala wa Namasuba Lufuka, Tamale Edward ategeezezza nti abantu bakyalemeddeyo wansi naye ekizibu akitadde bunafu bw’ebitongole ebirina okukola ogwa kalondoozi mu kifo kino obutakola mulimu gwabwe.
“Waliwo abanene abajja okuzimba mu kifo kino naye nga basinza ne Munisipaali amaanyi era okusinziira ku kibaddewo ekizimbe kino kibadde kizimbibwa ku misinde egyamanyi,” Tamale bw’ annyonnyodde.
Eyeerabiddeko Micheal Bukenya agamba nti poliisi ebamazeemu nnyo amaanyi kuba mukifo ky’okuleeta ekimotoka kiweetiye ate ereese y’amazzi eyambako okuzikiriza omuliro nga kati abantu abaliwo bakozesa mikono okunoonya bwebatuuka ku bantu abalaajanira wans mu kizimbe kino.

Ku mirambo gino kuliko abaana abato babiri n’abasajja babiri ate nga waliwo abaddusiddwa mu ddwaliro okusobola okutaasa obulamu bwabwe.
Abatuuze bagamba nti ekizimbe kino kimaze ebbanga nga kizimbibwa naye ebisozesebwa tebibadde bya mutindo.
Omuwendo gw’abantu omutuufu abakafiiramu tegunnamanyika, abantu ba bulijjo ne poliisi bakyagenda mu maaso n’okuyiikuula okulaba oba baliko be basobola okutaasa.









