
Omwami wa Kabaka ow’essaza Kyadondo Agnes Nakibirige Ssempa avudde mu bulamu bw’ensi.
Kaggo agwiriddwa ekimbe, wabula abadde atwalibwa mu ddwaliro ku Lwokutaano n’assa ogw’enkomerero.
Kaggo Agness Nakibirige Ssempa yasembayo okwogerako eri abantu ba Ssaabasajja mu lujjudde nga 28, Septembe, 2022.
Yali mu gombolola ya Makindye Mituba III, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bweyali alambula emirimu egikolebwa mu gombolola eno.
Kaggo yebaza eggombolola eyo okukola obulungi mu nkola ya Luwalo Lwange mu myaka egiwerako okukira ku gombolola endala mu Bwakabaka, era yakubiriza nnyo abantu ba Kabaka okukuuma ettaka.
Kinajjukirwa nti, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima, ku nkomerero y’omwaka 2019 naalonda Agnes Nakibirige Ssempa okubeera omwami we ow’essaza Kyadondo ( Kaggo).
Agnes Nakibirige Ssempa yasooka kubeera mumyuka wa Kaggo w’ebiseera ebyo Owek Patrick Luwaga Mugumbule eyafuuka Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda.
Omwogezi w’obwakabaka era nga minisita avunaanyizibwa ku lukiiko ne kkabineeti Owek Noah Kiyimba abikidde Obuganda.
Gutusinze ayi Beene twakuumye bubi!









