
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Eyaliko omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Rotarian Nelson Kawalya afudde. Owek. Kawalya afiiridde mu ddwaliro e Mengo gyabadde addusiddwa okufuna obujjanjabi.
Owek. PDG Nelson Kawalya yasemba okulabikako ku Lwomukaaga oluwedde nga December celebrated bweyali ajaguza emyaka 50 mu bufumbo obutukuvu.
Waafiridde ng’ono y’omu ku bakuza b’Omutaka w’Ekika ky’ Enseenene Kalibbala Adnan Nsozi.
Wetukoledde eggulire lino ng’ enteekateeka z’okuziika Owek. Kawalya tezinafulumizibwa.
Gutusinze nnyo ayi Beene