
Bya Musasi Waffe
Busabi – Butaleja
Abayizi babiri beebakakasiddwa okufa oluvannyuma lw’okuggwirwa ekisenge ky’essomero lya Golden Heart Nursery and Primary School mu ggombolola ye Busabi mu disitulikiti ye Busabi bwebabadde bagezaako okukisuula.
Omu ku baana abafudde ye Innocent Maholo abadde asoma P.3 ate ebikwata ku mwana omulala tebinategerekeka.
Waliwo abaana abalala basatu abafunye ebisawo nebaddusibwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Kigambibwa nti enkuba eyatonnye ku Ssande yabambuddeko akasolya wano omu ku basomesa nalagira abamu ku bayizi okusuula ekisenge kino wabula bwebabadde bakikoona nekibagwiira.
Amyuka omubaka wa Pulezidenti e Butaleja, Rachael Nkoko agamba nti omwana omu yafiiriddewo ate abalala bafiiridde ku ddwaliro lya Busolwe General Hospital.
Nkoko ategeezezza nti nannyini ssomero lino Boniface Owor akwatiddwa ayambeko okunnyonnyola era akuumirwa ku poliisi ye Butaleja.
Bbo abazadde batabukidde bannanyini ssomero lino olw’okulagajala nebatuuka okulagira abayizi okukoona ekizimbe kino mukifo ky’ okupangisa abantu abakulu.
Omu ku bazadde eyafiiriddwa omwana Nelson Weere agamba nti oluvannyuma lw’ekisenge okuggwa abasomesa badduse era abayizi ababadde bawagamidde mu bifunfugu baataasiddwa batuuze.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi, Moses Mugwe agamba nti wabaddewo obulagajavu okuva eri abatwala essomero lino ekyaleetedde abayizi okufiirwa mu bulamu.









