Bya Ssemakula John
Kampala
Munnnamajje era abadde amyuka omwogezi wa gavumenti, Col. Shaban Bantariza afudde.

Bantariza afiridde mu ddwaliro e Mulago gyabadde yatwaliddwa nateekebwa mu kasenge k’abalwadde abayi.
Omwogezi w’Eggye lya UPDF, Brig. Flavia Byekwaso afulumizaawo ekiwandiiko ekikakasa okufa kwa Bantariza era nasaasira eggwanga n’emikwano.
“Eggye lya UPDF n’ennaku nnyingi lifunye amawulire g’okufa kw’ amyuka ssenkulu wa Uganda Media Centre era omumyuka w’omwogezi wa gavumenti Col. Shaban Bantariza, afiridde e Mulago,” Brig. Byekwaso bw’agambye.
Mu mwaka guno, Bantariza yavaayo neyeesimbawo ku kifo ky’ Omumyuka wa ssentebe w’ekibiina ki NRM ow’ebitundu bya Ankole asobole okutuula ku kakiiko ak’okuntikko ak’ekibiina akamanyiddwa nga CEC.
Ono yategeeza nga bwabadde nti yalina ebintu bingi byakoledde Uganda okusooka nga aginunula nga omuyeekera era nga akkiriza nti asobola okununula ekitundu kya Ankole nga akola nga ssentebe waakyo ow’ekibiina.
Bantariza yagamba nti ekikulu ekyali kimuleeta mu lwokaano kwekulaba nga ekibiina kiddayo ku miramwa gyaakyo kwekyazimbira.
Wabula gyebyagwera nga ono agyiddwa ku lukalala mu ngeri etategeerekeka.