Bya Ronald Mukasa
Nalubaale
Abantu bataano bakakasiddwa okufiira mu kabenje k’eryaato ku Nnyanja Nalubaale mu kiro ekikeeseza olwaleero.
Kigambibwa nti eryaato lino okwabadde abasaabaze 8 lyabadde lyolekera mwaalo gwe Lambu wabula nerikubibwa omuyaga ogwamaanyi ekyaviriddeko yingini yalyo okuzikira neritandiika okubbira era wano abamu nebalibuukako okutaasa obulamu nga ku bano abasimattuse amagombe bali basatu bokka.
Abalala abasobodde okuwuga nebatuuka ku lukalu baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka okufuna obujjanjabi.
Amyuka ssentebe wa disitulikiti ye Kalangala, Resty Nakawungu agamba nti bano bonna bandiwonyewo singa baabadde ne Jaketi z’oku mazzi ezitaasa obulamu.
Nakawungu ayongeddeko nti ekizibu ekirala be banannyini maato bwebatalina nsimbi kugula yingini mpya nga ezikozeaebwa zonna nkadde ekiteeka obulamu bwa bantu mu Mayiga.
Mukiseera kino omuyiggo ku mirambo gy’abafiiridde mu njega eno gukyagenda mu maaso.