Bya Huzairu Jjuuko Wasajja
Kajjansi
Abakulira essomero li Kids and Love Daycare and Kindergarten erisangibwa e Bwebajja bakulembeddemu abayizi b’essomero lino okulambula ekitongole ekirabirira abaana abali mu bwetaavu wamu n’okutumbula ebitone by’abaana bano, ki Happy Children’s Initiative erisangibwa e Kajjansi, Kifene Nakigalala.

Omutandisi wa Kids Love Daycare and Kindergarten Omuky. Margaret Mayiga asinzidde eno n’akubiriza amasomero okufaayo okwenyigira mu nteekateeka nga zino kubanga ziyambako okuyigiriza abaana nti okuyamba kikolwa kirungi.
“Wakati nga tugezaako okukuza ensi yaffe, tufeeyo nnyo okuyigiriza emiti emito gino okuyambanga bannaabwe ababeera mu bwetaavu kubanga abantu abamu tebamanyi na mugaso guli mu kuyamba era y’ensonga lwaki tulaba nga omuntu asinga okuyamba ennyo naye afuna nnyo kubanga Katonda aba alina okumuwa ebyo by’akozesa okuyamba abalala, y’ensonga lwaki nkubiriza amasomero okwettanira ennono eno” Margret Mayiga.
Ono agamba nti ekikolwa kino basazeewo okukikola basobole okuwa abaana ekyokulabirako wamu n’okussa mu nkola ebibasomesebwa.
“Abaana tubadde tubayigiriza okwagala naye nga bwetukimanyi nti okwagala kulimu Ebika abasomesa babayigiriza nti tetwenkanankana naye waliyo abantu be tubeera nabo nga tebalina buyambi nga ffe bwe tulina, olw’ensonga nti abamu baba bafiibwako abazadde nga n’abalala emmere ebatawanya n’ebizibu ebirala bingi n’olwekyo kye twavudde tuvaayo nga Kids love ne tunonyayo abamu ku bantu abo, ne tufuna aba Happy children’s Music initiative tugende tubayambe” Margret Mayiga.
Ono era yebazizza abazadde ababawa abaana olw’omutima omulungi ogw’ekizadde gwe babalaga nga ne mu nteekateeka eno babaddewo nnyo, ate bbo abasomesa abebazizza byansusso olw’eddimj lye bakola mu baana bano ery’okubabangula.
Ate ye omukulu w’essomero lya Kids Love Daycare and Kindergarten omukyala Faridah Nakazibwe Favour agamba nti abaana bano aba Happy children’s music initiative basazeewo okubayamba kubanga balina ebitone ebyenjawulo okugeza nga okuyimba, okuzina amazina wamu n’okukuba ebivuga ebyenjawulo n’ebitone ebirala bingi.
“Ebitongole bingi ebyetaaga obuyambi naye ffe twasazeewo okuyamba abantu baffe ab’okukyalo kubanga twalabye nga beetaga okukuza ebitone byabwe, twazuula nti omuntu alina ebitone nga bino takaddiwa mangu ate ne mukibiina babeera bagezi, era y’ensonga lwaki twavuddeyo tubakwatireko basobole okutuukiriza ebirooto byabwe.” Nakazibwe Omukulu w’essomero.
Omutandisi wa Happy Children’s Music initiative omukyala Nakibuule Claire yebazizza nnyo essomero lya Kids love nti kubanga ekintu kye bakoze kyamuwendo nnyo mu bulamu bw’abaana bano, era wano wakoowoledde abo bonna abalina obusobozi okuvaayo okuyamba abali mu bwetaavu.

Abaana ba Happy children’s music initiative babawadde ebintu omuli emmere enkalu okugeza; obuwunga, omuceere, sukaali, ebikozesebwa mu kusoma nga ebitabo ne kkalaamu, engoye n’ebintu ebirala bingi.









