Bya Ssemakula John
Kampala
Omu ku batandisi b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Moses Nkonge Kibalama, avudde mu ndagaano gye yakola n’ekisinde kya People Power Movement ekikulirwa Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine.
Endagaano ono gy’asazizzaamu yakolebwa mu July 11, 2020 era n’etondawo ekibiina ekiggya ku ludda oluvuganya era Kyagulanyi n’alondebwa okubeera omukulembeze waakyo.
Wabula mu bbanga lya mwaka gumu, babiri ku bantu bana abaatandika ekibiina kino okuli Kibalama ne Paul Ssimbwa Kagombe, bazze beemulugunya ku ntambuza y’emirimu mu kibiina nga balumiriza Kyagulanyi ne banne okuva ku ndagaano.
Eggulo ku Mmande bano baalangiridde nga bwe bavudde mu ndagaano eno era nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Mugabi Shyaka and Co. Advocates baawandikidde akakiiko k’ebyokulonda okukategeeza ku kusalawo kuno.
Kibalama ne Ssimbwa era baasabye olukkusa okuva mu kakiiko k’ebyokulonda okulonda obukulembeze bwa NUP obwekiseera awamu n’okuteekateeka Ttabamiruka w’ekibiina, basobole okulonda obukulembeze bw’ekibiina obuggya.
Ababiri bano balumiriza Kyagulanyi okubeesamba era nga tebamanyi kibiina bwe kiddukanyizibwa, ekintu ekitali mu ndagaano.
Mu bbaluwa gye baawandiikidde akakiiko k’ebyokulonda, baategeezezza nti kaweefube yenna gwe bakoze okutabagana n’abakulira ekibiina kino kati n’okulaba nti batambulira ku ndagaano, agudde butaka era kwe kusalawo okuva mu ndagaano eno eya 2020.
Wabula ate abalala ababiri ku baatandika ekibiina kino beesambye ebya Kibalama nga bagamba nti ono ne Ssimbwa balina bye beenoonyeza. William Odinga Balikuddembe ne Winston Kigozi, baavaayo ne bafulumya ekiwandiiko nga balaga nga bwe batalina bwetaavu kweddiza kibiina kya NUP nga Kibalama bw’agamba era ne basaba ebigambo bya Kibalama bitwalibwe ng’ebibye ng’omu so si batandisi ba NUP.