![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/07/Amongi-768x1024.jpeg)
Ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ekya KCCA olwaleero kiyimirizza essente ez’enjawulo ezijjibwa ku bagoba ba takisi.
Mu ziggyiddwawo kuliko essente z’okuyingira mu paaka eziri wakati w’ennusu 1000-4500, ez’okutikka eziri wakati wa 3,000 ne 20,000 wamu n’ezikola ku mbeera z’abakozi eziri wakati wa 20,000 ne 50,000.
Minisita akola ku nsonga za Kampala Betty Amongi yategeezezza nt ekiragiro kye kitandika enkya ku Lwokuna okukola.
Ono yategeezezza nti bafunye okwemulugunya okuva mu bagoba ab’enjawulo nga bagamba nti essente ezibasabibwa nnyingi nnyo.
Okuyimiriza kuno ku genda kumala omwezi gumu nga KCCA bweyeebuuza ku bekikwatako.
Essente endala era eziyimiriziddwa kuliko obukadde obubiri obujjibwa ku mugoba ayeegasse ku siteegi mu ppaka.
Ono era yalabudde abakulembeze ba takisi obutagezaako kujjayo ssente mu banka mu kaseera kano.
Ono era yategeezezza nti baafunye okwemulugunya ku bannanyini ppaka abajjako abantu essente ennyingi.
Amongi yategezezza nti bakkiriziganyizza ne bannanyini mmotoka obutajjako bavuzi ssente ezisukka mu 3500 olunaku.
KCC yakaksa ppaka munaana nga kuzzo; Namayiba, Kisenyi ne Namirembe ziri ku ttaka ly’abantu baabulijjo.
URN