Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka – Buddu
Eyeesimbyewo ku bubaka bwa palamenti mu muluka gwa Kimaanya Kabonera era Mmeeya w’ekibuga Masaka, Godfrey Kayemba Afaayo, ategeezezza nti agenda kulwanirira ensonga Ssemasonga ettaano, Buganda kw’eyimiridde, asobole okubakulaakulanya.
Bino, Kayemba yabyogeredde mu Muluka gw’e Kiteredde ku byalo Kyalubu, Kisaaka ne Mwalo mu Kabonera ng’anoonya akalulu mu batuuze n’okubalaga enteekateeka ze singa bamulonda.
“Tewaliyo mukulembeze mu ffenna abeesimbyewo ajja kusobola ku bagatta nga nze Kayemba Afaayo. Nze mwenna mbagatta nga mbaweereza awatali kusosola mu ddiini, bibiina n’amawanga. Okukuza ekibuga kya Ssaabasajja ekya Masaka twetaaga omukulembeze alina obumu obuli mu nsonga Ssemasonga,” Kayemba bwe yaweze.
Kayemba yagasseeko nti Kamalabyonna Charles Peter Mayiga, abadde abalambika ku nsonga Ssemasonga ettaano omuli, obumu era ng’abantu balina okulonda omuntu azikkiririzaamu bwe baba baagala okumufunamu.
Ono Kayemba yagambye nti obumu bw’abadde akozesa ng’akulembera ekibuga Masaka, bwe bumu bw’agenda okukozesa ng’ateeseza bannamasaka mu palamenti.
Yalaze ng’ekibuga kya Ssaabasajja kino bwe kyagattibwako ebitundu ebiwera okufuuka City, nga mulimu abantu abakkiririza mu Buganda wadde nga si baganda nga noolwekyo, tebajja kwetaaga muntu abawulayawulamu.
Mu birala bye yasuubizza mulimu; okulaba nti ekibuga kya Beene kiteekebwateekebwa bulungi, okutumbula ebyenjigiriza, okutondawo emirimu n’okulaba ng’anywerera ku nsonga z’abantu aba wansi.
Abeesimbyewo mu kitundu kino ekya Kimaanya- Kabonera, bawera musanvu wabula ng’okuvuganya okwamaanyi kuli wakati wa Kayemba Afaayo owa FDC, Abed Bwanika owa NUP, Asiimwe Robert owa NRM ne Mbabaali Jude owa DP.