Bya Gerald Mulindwa
Kyannamukaaka – Buddu
Katikkiro w’Engabi Ennyunga omuggya, atuuziddwa mu butongole mu buweereza buno. Stephen Muyunga, ye Katikkiro w’e Ngabi Ennyunga atuuziddwa mu bukulu buno ku mukolo ogubadde ku butaka bw’Ekika e Bwende mu ggombolola ya Ssaabagabo Kajeerero Kyannamukaaka e Buddu.

Omutaka Kannyana, omukulu w’Ekika ky’e Ngabi Ennyunga, Daniel Kiwana, amukwasizza omuggo nga akabonero ak’obuyinza obumuweereddwa okumulamulirako bazzukulu be mu kika kino. Ono amukuutidde okukumaakuma bazzukulu be babeere bumu olwo Ekika kisobole okugenda mu maaso.
Omutaka Kannyana akubirizza abazadde okwerekereza kye basobola naye bafube okuweerera abaana baabwe Ekika kyeyongere okufuna abazzukulu abayivu era abalina obukugu obw’enjawulo.

Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone era Katikkiro w’Ekika kya Ngaali, Oweek Robert Sserwanga Ssaalongo, ku lw’obwakabaka, asibiridde Muyunga entanda y’okukimanya nti obwa Katikkiro buvunaanyizibwa era ekiseera bwekirituuka nga omuggo aguzzaayo, era n’amulabula nti abantu baagenda okulamulirako omutaka Kannyana, mulimu, abalimba, aboogezi, abakozi, abataagaliza, wabula bonna alina okutambula nabo kulw’obulungi bw’Ekika, bw’atyo n’asaba abazzukulu mu Kika kino okukwasizaako Katikkiro Muyunga okutuukiriza emirimu gy’Ekika.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Abakulu Ab’Obusolya, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, asabye Mw. Muyunga Stephen afube okuteeka Ekika ku mulembe Omutebi, nga agamba nti Ebika bye Buganda, bwe byegatta bikola obuganda, n’olwekyo nsonga nkulu okukuumira ebika byaffe mu buwufu bwa Nnamulondo Buganda esobole okubaawo emirembe n’emirembe.
Oweekitiibwa Mukasa Ivan, mu bubaka obumutikkiddwa Minisita w’obuwangwa ennono n’obulambuzi, Oweek Dr Anthony Wamala, obubaka bwe abusindise eri abavubuka okwekuuma mukenenya kubanga emirimu gy’Ebika gikolebwa balamu. Abasabye beefumiitirize ku buvunaanyizibwa obwakwasibwa Ssaabasajja Kabaka obw’okubeera e munyenye mu kulwanyisa mukenenya ku lukalu lwa Africa.

Katikkiro w’Engabi Ennyunga omuggya, Stephen Muyunga, yeyamye okuweereza Ekika kye ne Kabaka we, okulaba nga abantu ba Buganda banywerera ku buwangwa bwabwe era nga n’eddiini zaabwe tebazisudde muguluka.











