• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro n’omukyala nabo bawandiise ennyiriri mu Bayibuli

Gambuuze by Gambuuze
December 9, 2019
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro n’omukyala nabo bawandiise ennyiriri mu Bayibuli
0
SHARES
39
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Musasi waffe

Katikkiro Charles Peter Mayiga n’omukyala Margret Mayiga begasse ku Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ne Maama Nnabagereka Sylvia Nagginda mukuwandiika ennyiriri mu Bayibuli empandiike n’engalo esoose mu Uganda. Aba Bible Society of Uganda, nga bakulembeddwamu omulabirizi we Mukono Rev William James Ssebaggala bakedde ku Butikkiro, amaka amatongole ag’obwakatikkiro okusobozesa Mayiga, omukyala wamu ne Ssabawolereza wa Buganda Oweek. Christopher Bwanika okuwandiika ennyiriri zaabwe. Kabaka yeyasookera ddala okuwandiika ennyiriri ttaano  mu suula y’okubikkulirwa [Genesis] munteekateeka eno. Katikkiro awandiise ennyiriri ssatu naye mu ssuula y’okubikkulirwa, ate ye Oweek. Bwanika nawandiika ennyiriri bbiri. Mayiga ategeezezza nti kyetaagisa okuddaabiriza ebintu byaffe ebiba byonoonese tuddemu okubikozesa.

“Ssekabaka Muteesa 1, bweyawandiikira Nnabakyala wa Bungereza ebbaluwa, yalina Katikkiro ne Kabaka aliwo ng’omulimu guno gugenda mumaaso naye alina Katikkiro n’endowooza nti amakage amatongole gaba malungi okukolebwamu omulimu ogwo,” Mayiga bwagambye. Omulabirizi Ssebaggala agambye nti beebaza Katonda olw’okubawa omwaganya okuteekawo ebyafaayo mu Uganda. “Nga tujjukira Muteesa I, waaliwo okwolesebwa eri aba Bible Society abaagamba oluvanyuma lw’emyaka 50 nga bazze mu Uganda batekewo ekyafaayo eky’okuwandiika Bayibuli ng’ewandiikiddwa mumikono gya Bannayuganda, ensi ntono nnyo ezisobodde okukola ekintu kino,” Ssebaggala bwategeezezza. Asiimye nnyo Ssabasajja Kabaka olw’okukkiriza okubeera omuntu eyasooka okuwandiika ennyiriri ezisooka mu Bayibuli okuva ku lusooka okutuuka ku lw’okutaano. Yayongeddeko nti baagala abantu ba Buganda be baba bawandiika essuula y’okubikkulirwa yonna. Buli ayagala, alina eddembe okuwandiika oluvanyuma lw’okuwaayo emitwalo kkumi  nga zino zigenda kweyambisibwa mukuzimba ekitebe ekiggya kya Bible Society mu Uganda.  

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist