Bya Ssemakula John
Lubaga – Kyaddondo
Abakristo okwetoolola ensi yonna bakedde mu masinzizo okusiigibwa evvu nga beetegekera ekisiibo ekyennaku 40 nga beenenya n’okweddabulula n’oluvannyuma bayingire ebikujjuko by’Amazuukira ga Yezu Kristo ag’omwaka guno.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Minisita w’Amawulire Noah Kiyimba basiigidde ku lutikko e Lubaga, mu kitambiro kya Missa ekikulembeddwa Fr. Emmanuel Ssebayigga.
Fr. Ssebayiga asabye abantu okunnyikiza okukkiriza kwabwe kube kwa nsonga, n’okuyamba abeetaavu naddala mu kiseera kino eky’ekisiibo.
Abakristo bulijjo bakozesa akadde k’ekisiibo okunywerera ku Yezu Kristo nga banonaabonera wamu naye era evvu balikozesa nga akabonero akalaga okufa awamu n’okuzuukira ku nkomerero ya byonna.
Akaseera kano era kabeera kakwenenya bibi awamu n’okulanga okufa kwa Yezu Kristo era mu ngeri yeemu evvu kekabonero akabakutula ku bibi awamu nokufa.
Abamu ku bakkiriza mu budde buno beesonyiwa ebikolwa omuli okunywa omwenge ne Sigala, okumala galayira awamu n’okusiiba ebimu kwebyo byebasinga okulya n’okwagala ate abalala basiibira ddala ate abalala ekiseera kino bakisomamu bayibuli awamu nokusaba ennyo.
Kinajjukirwa nti ekisiibo kino kirina akakwate ku nnaku 40 abaana ba Isirayiri zebamala mu ddungu bwebaali bava e Misiri okugenda mu nsi ensuubize eye Canan awamu n’ennaku 40 Yezu Kristo zeyasiibira mu ddungu.