• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Ebisanyusa

Katikkiro Mayiga y’omu ku basiigiddwa evvu okwetegekera ekisiibo

Gambuuze by Gambuuze
February 22, 2023
in Ebisanyusa
0 0
0
Katikkiro Mayiga y’omu ku basiigiddwa evvu okwetegekera ekisiibo
0
SHARES
39
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Lubaga – Kyaddondo

Abakristo okwetoolola ensi yonna bakedde mu masinzizo okusiigibwa evvu nga beetegekera ekisiibo ekyennaku 40 nga beenenya n’okweddabulula n’oluvannyuma bayingire ebikujjuko by’Amazuukira ga Yezu Kristo ag’omwaka guno.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Minisita w’Amawulire Noah Kiyimba basiigidde ku lutikko e Lubaga, mu kitambiro kya Missa ekikulembeddwa Fr. Emmanuel Ssebayigga.

Fr. Ssebayiga asabye abantu okunnyikiza okukkiriza kwabwe kube kwa nsonga, n’okuyamba abeetaavu naddala mu kiseera kino eky’ekisiibo.

Abakristo bulijjo bakozesa akadde k’ekisiibo okunywerera ku Yezu Kristo nga banonaabonera wamu naye era evvu balikozesa nga akabonero akalaga okufa awamu n’okuzuukira ku nkomerero ya byonna.

Akaseera kano era kabeera kakwenenya bibi awamu n’okulanga okufa kwa Yezu Kristo  era mu ngeri yeemu evvu kekabonero akabakutula ku bibi awamu nokufa.

Abamu ku bakkiriza mu budde buno beesonyiwa ebikolwa omuli okunywa omwenge ne Sigala, okumala galayira awamu n’okusiiba ebimu kwebyo byebasinga okulya n’okwagala ate abalala basiibira ddala ate abalala ekiseera kino bakisomamu bayibuli awamu nokusaba ennyo.

Kinajjukirwa nti ekisiibo kino kirina akakwate ku  nnaku 40 abaana ba Isirayiri zebamala mu ddungu bwebaali bava e Misiri okugenda mu nsi ensuubize eye Canan awamu n’ennaku 40 Yezu Kristo zeyasiibira mu ddungu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist