Bya Stephen Kulubasi
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, alaze okutya ku bannabyabufuzi naddala ab’oludda oluvuganya abaagala abalwanire entalo zaabwe n’agamba nti kino tasobola kukikkiriza.
Kamalabyonna Mayiga bino abyogeredde mu lukiiko lwa bannamawulire lw’ayise mu Bulange- Mmengo mw’alagidde ebimu ku bisoomoozo n’ebituukiddwako mu bukulembeze bwe obw’emyaka 8 ng’akutte Ddamula. “Buganda si kibiina kya byabufuzi era nze sisobola kukolokota gavumenti oba okugiwaana nga bannabyabufuzi bwe bakyagala kubanga si nze omwogezi waabwe.” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Owek. Mayiga agamba nti mu myaka gino 8, kati buli munnabyabufuzi asobola okwegazanyiza obulungi e Mmengo era kino kyeyolekera bulungi mu kalulu akawedde , buli omu ke yali atidde naye olw’okuba Kabaka w’abantu bonna, buli kibiina na buli ndowooza bagisembeza era na kino kibadde kikulu mu bukulembeze bwe.
Ku nsonga y’obutakkaanya n’Olulyo Olulangira, Owek. Mayiga agambye nti tewali kukontana kwonna wabula waliwo abantu ssekinnoomu abeenoonyeza ebyabwe. wano asabye abantu okwewala eng’ambo ezitambulira ku mutimbagano kuba zijja kubawabya.
Ku bituukiddwako, Katikkiro Mayiga ategeezezza nti batumbudde ekifaananyi ky’Obwakabaka era n’asikiriza abavubuka okwettanira enteekateeka z’Obwakabaka.
“Kye nsinga okwenyumirizaamu ky’ekifaananyi n’ettuttumu ly’Obwakabaka okwetooloola ensi. Nkakasa nga kati buli muntu mu nsi amanyi Obuganda n’ennono zaabwo era mulaba ne Bakabaka abaamaanyi mu nsi nga kati baakyalako wano.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti batumbudde obulimi bw’emmwanyi nga bayita mu nteekateeka ya Emmwanyi Terimba era n’okwongera okuwagira emirimu gy’Obwakabaka bwa Buganda nga bayita mu ‘Luwalo Lwaffe’ ne ‘Amakula.’ Agambye nti ensimbi zino ezireetebwa abantu ba Kabaka ze ziwagira emirimu n’empeereza ey’enjawulo mu bantu ba Kabaka.
Ono agamba nti wadde ensi yonna yali mu kutya ku muggalo gwa Ssennyiga Corona, naye ng’Obwakabaka baasobola okutwala emirimu mu maaso era tewali bakozi baafiirwa mirimu gyabwe wadde ng’ensako gye bafuna yasalikako.
Mukuumaddamula asiimye emikutu gy’empuliziganya egy’Obwakabaka olw’okusomesa abayizi mu kiseera ng’amasomero gaggaddwa wamu n’okusanyusa abantu mu muggalo, ekintu ekyawa abantu essuubi era ne kikendeeza ku butabanguko mu maka.
Mukuumaddamula akinoganyizza nga bw’atayinza kuttira liiso ku muntu yenna atatambulira mu nkola y’emirimu ey’omulembe omuggya kubanga kizing’amya emirimu. Bw’atyo n’abasaba okwekwata obuyiiya, obunyikivu, obwerufu n’okukozesa okwagala, basobole okwanguyirwa emirimu.
Katikkiro agumizza abantu nti ebiseera by’Obwakabaka eby’omumaaso bitangaavu wadde nga tabisuubira kubulamu bisoomooza. Agambye nti amanyi ge mu mwaka ogwomwenda agenda kusinga kugamalira mu kunyweza ebituukiddwako.
Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga yalangirirwa ku Bwakatikkiro nga 12 May 2013 ate n’akwasibwa Ddamula nga 29 omwezi ogwo gwennyini. Ono yadda mu bigere by’Oweekitiibwa Yig. John Baptist Walusimbi.