
Bya Shafik Miiro
Kampala – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza bannabitone nti balina bulijjo okubeera abamalirivu mu byebakola balyoke bawangule era bayitimuke.
Obubaka buno abuwadde yeetabye ku kivvulu ky’ Omuyimbi Spice Diana ekyayindidde ku Serena akawungeezi k’eggulo ku Lwokutaano.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yebazizza omuyimbi Spice Diana olw’okuwaayo obudde n’akuza ekitone kye wakati mu mbeera esoomooza gye yayitamu ng’atandika.
Katikkiro alabudde bannabitone ku buvuyo n’okulwana kwe batandise ennaku zino, by’agambye nti bijja kutta omulimu gwabwe, abantu batandike okutya okugenda mu bivvulu byabwe olw’effujjo eribeerayo.
Kyokka agamba nti newankubadde waliwo okusomooza kuno waliwo abayimbi abaggya abaleese ebitone eby’enjawulo nga Dax Vibes, Ava Peace, Nandor Love n’abalala era abasabye ekitone kyabwe okukitwala nga mulimu ddala.

Ono ategeezeza nti Obwakabaka bulina omulimu okuwagira bannabitone nga bwekikolebwa ku bantu abalala abakola emirimu egy’enjawulo, agamba nti nga bw’alambula abalimi b’emmwanyi, bannamakolero n’abalala, ne bannabitone balina okuddizibwamu amaanyi mu mulimu gwabwe.
Kamalabyonna asiimye nnyo enteekateeka y’ekivvulu gy’agambye nti ebadde nnungi ddala nga eraga nti abateesiteesi baawaddeyo obudde okukola ekintu ekirungi.

Mu kivvulu kino, Katikkiro abadde ne Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga Ssaalongo, ne Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke.









