• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Mayiga yeebazizza Beene olw’okusoosowaza abavubuka

Gambuuze by Gambuuze
April 13, 2023
in Agafa e Mengo
0 0
0
Katikkiro Mayiga yeebazizza Beene olw’okusoosowaza abavubuka
0
SHARES
65
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Lubiri – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebazizza  Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, olw’okusoosowaza ennyo abavubuka ng’abassa ku mwanjo ekintu ekyali kyakoma okulabwako mu mulembe gwa Ssekabaka Mwanga II.

Ow’omumbuga Mayiga okwogera bino abadde  mu maaso ga Nnyinimu ku mukolo gw’amazaalibwa g’Empalabwa ag’emyaka 68 mu Lubiri e Mmengo ku Lw’okuna.

Owek. Mayiga alambuludde nti  Omulembe Omutebi gwazzaawo Obwakabaka era  gutumbudde abavubuka n’okututumula tekinologiya ekibayambye okwekulaakulanya.

Abasabye okweyambisa Obuwangwa, ennono ne tekinologiya okwekulaakulanya

Mu ngeri ey’enjawulo Katikkiro Mayiga era yeebazizza abantu ababeera ku lusegere lwa Ssemunywa omuli abasiige, abambowa, abeby’okwerinda n’abantu abalala olw’okumulabirira obulungi.

Era Owek. Mayiga ategeezezza nti omukolo guno ogw’amazaalibwa gwa Nnono n’Obuwangwa era neyeebaza Sarah Nalule Kisosonkole ne Ssekabaka Edward Muteesa II olw’okuwa Buganda Omulangira eyalya engoma.

Owek. Mayiga agamba nti amazaalibwa ga Kabaka tegubeera bubeezi mukolo gwakujjukira, wabula wabaawo ensonga enkulu ekwatibwako ng’era  mu myaka kkumi egiyise, Omutanda yasiima gibeere ku kulwanyisa endwadde ez’enjawulo.

Asabye abantu okunyweza obuyonjo mu maka gaabwe; okwekebejjesa emibiri, beegendereze byebalya, n’okukola dduyiro, kibayambe okuba abalamu, n’okubaako enkulaakulana gye beetuusaako.

Ye Ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi Owek. Daudi Mpanga era minisita avunanyizibwa ku mirimu gy’obwakabaka egy’enkizo, agambye nti  omukolo gutambudde bulungi nasaba abantu okuggwayo Beene bw’anaaba asimbula emisinde ku Ssande nga 16/ April/ 2023.

Omukolo guno gwetabiddwako abantu ab’enjawulo omuli; Abamyuka ba Katikkiro, Baminisita, Bakatikkiro abaawummula, Abaami bamasaza, abataka abakulu ab’Obusolya ne bakatikkiro baabwe, Abalangira, Bannaalinya, Abambejja, Bannabyabufuzi  n’abantu abalala.

Kinajjukirwa nti  ebikujjuko by’amazaalibwa ga Nnamuswa bigenda kukomekkerezebwa  n’emisinde  mubunabyalo, egigenda okubaawo nga 16 Kafuumulampawu 2023 Lubiri e Mengo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist