• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Mayiga yeebazizza ab’ebweru olw’okuwagira enteekateeka za Buganda

Gambuuze by Gambuuze
May 29, 2023
in Agafa e Mengo
0 0
0
Katikkiro Mayiga yeebazizza ab’ebweru olw’okuwagira enteekateeka za Buganda
0
SHARES
23
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Seattle – Amerika

Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga yeebazizza abantu ba Kabaka abawangaalira ebunaayira olw’okuvaayo nebawagira enteekateeka za Buganda ez’enjawulo ezireetebwa okulaakulanya abantu b’Omutanda.

Obubaka buno, Owek. Mayiga abuweeredde mu nsisinkano gyabaddemu n’abantu ba Kabaka abeetabye mu Buganda Bumu 2023 ku wooteri ya Hyatt Regency Hotel e Seattle mu Amerika ku Mmande.

Katikkiro Mayiga abasabye okufisangawo akadde bewummuzeemu wakati mu mirimu emingi gyebasobola  basobole okufuna embavu ezibatwala  mu maaso.

Ono azzeemu okukikaatiriza ng’ enteekateeka eno bwegendereddwamu okugatta abantu ba Beene abali ebunaayira  n’okubayamba okumanya ebikolebwa gavumenti ya Nnyinimu basobole okutambulira awamu ku nsonga ez’enjawulo.

Owek. Mayiga bano asoose kubayitiramu ku bintu ebituukiddwako mu myaka 10 gy’amaze nga akutte Ddamula nalaga nti wabaddewo okugenda mu maaso.

Ku ntandikwa, minisita avunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka abawangaalira ebunaayira, Owek. Joseph Kawuki yakiikiridde Owek. Robert Waggwa Nsibirwa nabayitiramu ku mbeera y’ebyenfuna nga bweyimiridde mu Buganda era nabalaga ebituukiddwako awamu newakyali okusomooza.

Ku mukolo guno, bamusaayimuto abawangaalira ebunaayira boolesezza ebitone eby’enjawulo nebyo byebamanyi ku Bwakabaka.

Omukolo guno gwetabiddwako, Omulangira David Kintu Wasajja, Abataka b’Obusolya, ababaka ba Palamenti, Abaami b’Amasaza ag’ebweru awamu n’abantu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist