Bya Musasi Waffe
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, agenda kutongoza akatabo akawandiikiddwa munnabyafuna, Dr. Hajji Bulaimu Muwanga Kibirige, amanyiddwa ennyo nga BMK ku Lwokuna nga 18,03, 2021 wali ku Wooteeri Africana.

Akatabo kano akaawandiikiddwa BMK yennyini, kannyonnyola olugenda lw’obulamu bwe n’engeri gy’asobodde okwerandiza yekka wamu n’okusoomoozebwa kw’asanze mu bulamu.
BMK alaga olugendo lw’omuvubuka eyakoma mu P.7 bw’atuuka okusiimibwa n’ekitiibwa kya Dokita olw’ebyo by’asobodde okutuukako mu bulamu.
Akatabo kano koogera ku musajja omumalirivu, ow’ekitiibwa era ow’omukisa era kannyonnyola olugendo lw’emyaka 50 egy’obukozi, obuwanguzi n’okusoomoozebwa omuli n’okumuzuulamu ekirwadde kya Kkansa w’akawago emyaka 6 egiyise era wano abasawo baali bamuwadde emyezi mitono nnyo ku nsi.
Okusoomooza okulala BMK kw’ayogerako kwaliwo mu mwaka gwa 1982 bwe yali e HongKong ng’ategeka okubuuka agende e Japan, ono yalina ssente za ddoola 52,000 ze Ssiringi za Uganda obukadde 190 era mu budde obwo zino zaali mpitirivu. Ono bwe yali ku kisaawe ng’alinze okweyongerayo, omubbi yanyakula Bulifukeesi ya ssente n’adduka nayo. BMK yakuba enduulu n’okuleekaana wabula omubbi ng’abulidde mu bantu abangi abaali ku kisaawe. Bwezityo ssente obukadde 190 zaali zigenze wamu ne Paasipooti ye era ono yalinga akomye kuba yali tasobola kweyongerayo mu Japan.
Yali asigazza kimu kutikkibwa ku nnyonyi azzibwe mu Uganda era abali mu buyinza mu kadde ako bwebandimukutteko baali baakumuggalira oba okumutta kuba yali adduse mu ggwanga ng’abeera Nairobi olw’okuteeberezebwa okuba ku balwanyisa gavumenti olw’ensonga nti yali mugagga. Mu 1982 kyali kizibu omuntu okufiirwa ddoola 52,000 n’addamu okuloka. Naye kino BMK yakikola n’addamu okutojjera era byonna biri mu kitabo kino kyatuumye “My Story of Building a Fortune in Africa.”
Ku katabo kano era BMK annyonnyola olugero lwe olw’omuvubuka omuto eyava mu ssomero n’atandika okusuubula emmwanyi ne omugenzi Hajji Ali Kibirige n’asobola okwerandiza n’afuuka munnabyanfuna omukukutivu n’azimba Wooteeri ne kkampuni ez’amaanyi mu ggwanga okuli Hotel Africana erina amatabi mu Kampala, Moroto ne Lusaka ekya Zambia.
BMK akuwa ebimu ku bintu ebikulu bye yasobola okuyigira ku kitaawe mu byenfuna mu mwaka gwa 1970 naye akakasa nti bino bikyali byankizo ne mu budde buno. Ono yalambuludde olugendo lwe wamu ne Famire ne batandika bbizineesi ez’enjawulo mu mawanga ag’enjawulo, ebiseera ebisinze okumuwa essanyu mu bulamu bwe wamu n’entegeka z’alina eri kkampuni ya BMK. Era alaga by’alowooza omuntu ayagala okubaako by’atuukako mu byenfuna mu myaka 40 egijja by’alina okukola.
Ku mukolo gw’okutongoza akatabo kano, abamu ku boogezi b’olunaku kuliko; Prof Samuel Sejjaaka era ono aliko obubaka bwe yawa ku mugguukiriro gw’akatabo kano.








