Bya Francis Ndugwa
Wakiso – Busiro
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akunze abantu okwagazisa abaana abato okunywa ku kkaawa basobole okukula nga bamwagala era bateekewo akatale olwo ensi esobole okulaakulana.
Bino Katikkiro abyogedde aggulawo ekirabo kya kaawa e Wakiso ekya Loyz Coffee, ku Nakibuule Plaza, ekyatandikiddwa Aloysius Ssemmanda. Wano banyweddewo ne ka kkaawa, oluvannyuma ne boolekera ennimiro.
“Emirundi egisinga kyotandika okukola nga oli muto kyotambulirako. Kyova olaba nti omwana mu Buganda bwebamuwa amatooke nga muto akula akimanyi nti ffe tulya matooke nowa kawunga era byabeeramu. Abato bwebanayiga okunywa kkaawa nga bakubirizibwa abakulembeze ku mitendera gyonna abantu kkaawa bajja kumunywa,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti ensonga lwaki baagala abaana bayige okunywa kkaawa kwekusobola okuteekawo akatale akasookerwako bakule nga bamumanyi era nga bamwagala bwatyo nasaba abantu okulima emmwaanyi, basiike kkaawa ate bamunywe.
Ono asaabuludde ebyogerwa nti kkaawa alwaza entunuunsi (Pressure) kuba buno obulwadde okusinga butambulira mu kikula ky’omusaayi gw’abantu awamu n’abantu okulemwa okwefaako nabo ababeera beeraliikirira ennyo (Okukabirirwa) era bwatyo asabye abantu okukomya okwelaliikirira kuba si ddagala.
Katikkiro Mayiga agamba tewali kunoonyereza kwonna kulaga nti kkaawa alemesa abantu okwebaka nakakasa nti kino kiva ku birowoozo kuba abaleeta ebigambo ku kkaawa kyava ku bantu abakola amajaani nga baagala okwefunira akatale.
Ono asanyukidde omulimu ogukoleddwa Ssemanda era nasaba abantu bulijjo okukola ennyo era bateekewo ebifo nga bino ebisobola okuyambako okuwummuza ku bwongo.
Ye minisita omubeezi ow’ebyobulimi, Owek. Hajji Amis Kakomo ategeezezza nti kino ekikoleddwa wano kwekuteekawo akatale k’emmwaanyi akasooka nga tezinatwalibwa bweru bwatyo nasaba abantu okuwagira ekirabo kya kkaawa kino ekisoose mu Buganda.
Omutandisi w’ekifo kino, Omw. Aloysius Ssemmanda yeebazizza Katikkiro Charles Peter Mayiga olw’obutakoowa kukunga bantu kulima mmwaanyi awamu n’okukola ennyo okutumbula embeera zabwe okusobola okubakulaakulanya awamu ne Buganda.
Mu kulambula kuno, Katikkiro Mayiga awerekeddwako Owek Noah Kiyimba, Owek Mariam Mayanja Nkalubo, Owek Amisi Kakomo, Owek Henry Sekabembe Kiberu n’abakungu abakwatibwa ensonga z’ebyobulimi mu Buganda.