• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga ku nsonga z’e Nakivubo: Alabudde abazimba mu kupapirira

Gambuuze by Gambuuze
November 6, 2025
in Amawulire
0 0
0
0
SHARES
126
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga alabudde abazimba mu kibuga okwewala okupapirira basookenga kufuna bakugu, olwo Uganda lw’ejja okutuuka ku nkulaakulana eyayaanirwa.

Okwogera bino, Katikkiro abadde ayogerako eri bannamawulire ku nsonga z’amataba agaakosezza abasuubuzi mu Kampala naddala mu bitundu by’e Nakivubo naddala enkuba lwe yatonnya ku Lwokutaano nga 31 Mukulukusabitungotungo.

Kamalabyonna ategezeeza nti eggwanga lino lirina abakugu abamala kyoka ate bwe kituuka mu nteekateeka z’okulakulanya ekibuga abantu bano balekebwa emabega nga tebebuuziddwako ku butya ebintu ebikolebwa bwe biyinza okuyambamu abantu b’omu kibuga ne batakosebwa singa wabaawo embeera eya katyabaga.

“Okukulaakulanya ekibuga kirungi naye kirungi okusooka okufuna abakugu abategeera ekirina okukolebwa kiyambe okwewala ebiyinza okuva mu kupapirira,” Katikkiro.

Katikkiro asaasidde abasuubuzi abafiirwa eby’amaguzi byabwe, kyokka n’abakubiriza obutaggwamu ssuubi naddala mu kiseera kino nga eggwanga buli muntu alwana okweyimirizaawo.

Katikkiro era asabye Gavumenti ku nsonga gye yasinyizaako ey’okuliyirira abasuubuzi, eyite mu mitendera emituufu naddala nga yekwata obukulembeze bw’abasuubuzi okusobola okumanya abantu abatuufu abalina okuliyirirwa era asabye kino kikolebwe mu budde.

Katikkiro akonye ku kya Ssaabasajja Kabaka okuggya e Nakivubo mwategereza nti waliwo obwetaavu okufuna ekisaawe ekigazi era Obwakabaka bwafuna okulambikibwa okuva eri abaddukanya ekissaawe ky’e Namboole, awatera okubeera empaka z’amasaza ezakamalirizo nti mu mwezi ogw’okuna omwaka guno nga n’enjego eno eyafiriiddemu abantu tenabawo, ne butegezeebwa nti obudde omupiira ogw’akamalirizo wegwalina okubeererawo mu kisaawe tekijja kubeerawo kubanga kijja kuba kiddaabirizibwa wakati mu kweteekatekera empaka z’Afrika ez’omupiira ate nga ne Wankulukuku mutono nnyo okusinziira ku bantu abaali basuubirwa okulaba omupiira ogw’akamalirizo.Owek

Owek. Mayiga asambazze byonna ebibadde bibungeesebwa mu mawulire nti Obwakabaka tebulumirirwa bantu olw’okuteeka omupiira mu kifo kino wabula kyasaliibwawo ku lw’obungi bw’abantu abaali basuubirwa okubeerawo amangu ddala nga Obwakabaka bufunye amawulire okuva eri abaddukanya ekisaawe ky’e Namboole.

Katikkiro Mayiga ayongedde okusaalira abantu abaafiriddwa emmaali yaabwe mu njega eno n’abasaba obutaggwamu ssuubi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.