• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga ku 13: Asabye Obuganda obutaggwamu ssuubi ku nsonga ya Federo

Gambuuze by Gambuuze
May 13, 2026
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga ku 13: Asabye Obuganda obutaggwamu ssuubi ku nsonga ya Federo
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka okugumiikiriza n’obutaggwamu ssuubi ku nsonga ya Federo gy’agambye nti y’emu ku nsonga ezitanaba kutuukibwako mu bbanga ery’emyaka 13 gy’amaze ng’akutte ddamula.

Katikkiro okwogera bino abadde mu maka ge amatongole Butikkiro gy’akyazizza abantu abantu ab’enjawulo okumujagulizaako emyaka 13 gy’amaze nga alamulirako Beene Obuganda. Mu bagenyi bano mulimu Bannaalinnya, Abalangira, n’Abambejja, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Bannaddiini, Bannabyabufuzi abooluganda n’emikwano gye, n’abamu ku baweereza mu Bwakabaka.

Kamalabyonna wa Buganda ategeezezza nti ensonga ya Federo eriko emisoso mingi egyekuusa ku nsonga z’amateeka ezigyetooloolerako era ng’eno y’ensonga lwaki Federo ky’ekimu ku bitanaba kutuukibwako newankubadde nga ky’ekimu ku biruubirirwa by’Obwakabaka okulaba nga wabaawo enkola ey’okugabana obuyinza mu Uganda buli kitundu kyekolere ku nsonga zaakyo.

“Mu myaka 13 nkoze n’abantu bangi, waliwo ebintu ebituukiddwako, kyokka ebyo tubituuseeko lwa kukolera wamu, nga tukubaganya ebirowoozo, okusaka amagezi, okufuna ebiteeso n’okubaako ebikkanyizibwako, nneebaza bonna be nkoze nabo. Ebituukiddwako buwanguzi bwaffe ffenna wamu, wewaawo waliwo ebitannatuukibwako nga Federo gye tutanafuna, waliwo munnamawulire eyangambye nti waliwo eyamugambye nti yali aneesiga okuleeta Federo naye mumazeemu amaanyi okuba nti Federo tetunagifuna mu myaka 13, ebya Federo bya nsonga ya ssemateeka ssi byakwanguyiriza, era oyo nabagambye bamugambe nti yekuume nga mulamu era aleme okuggwamu essuubi, kubanga Omuganda agamba nti Ssesolye bw’atafa atuuka ku lyengedde.” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro Mayiga yebaziza nnyo bonna abamuyambyeko mu buweereza bwe naddala Katikkiro eyawummula Oweek Joseph Mulwanyammuli gw’agambye nti yamuyigirako bingi ebimuyambye ennyo mu nsonga z’obukulembeze. Yebazizza Obuganda bwonna olw’essaala, ebirowoozo n’amagezi by’agambye nti bikoledde ddala nga mafuta mu lugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko.

Kamalabyonna wa Buganda ayongedde okukoowoola Obuganda okwongera okutambulira awamu, okunnyikiza okusitula omutindo mu byonna ebikolebwa okusobola okulaba nga okwolesebwa kw’okuzza Buganda ku ntikko kwongera okuggumira n’okutuukirizibwa.

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya’Abadiventi mu Uganda Omusumba Samuel Kajoba, y’abadde omwogezi ow’enjawulo ku mukolo guno ayogedde ku Katikkiro Mayiga nga omuntu akoze ennyo okusitula embeera z’abantu mu Buganda ,naddala okukulaakulanya abavubuka, n’okusitula ekitiibwa kya Buganda. Ayongoddeko nti newankubadde Katikkiro Mayiga asanze okusoomoozebwa kungi naddala abo abamwogeredde ebingi okwagala okumukkakkanya, tavudde ku mulamwa asigadde akola obuvunaanyizibwa Kabaka bwe yamukwasa.

Omusumba Kajoba agamba nti Katikkiro Mayiga aliko bingi eby’okuyigirako era ebibala by’obuweereza bwe birabwako era bisiimbibwa. Ono taleseeyo kuwonga Katikkiro mu maaso ga Katonda ayongere okumubeera amukozese ebinene ebyongera okuzimba Buganda ne Uganda.

Akulira okudda oluwabula gavumenti mu palamenti era Omubaka wa Nakawa West Joel Ssenyonyi yebaziza nnyo Katikkiro olw’okuvangayo entakera n’asitula eddoboozi ku nsonga ezinyigiriza abantu ba Buganda ne Uganda yonna era agamba obuweereza bwa Owek. Mayiga buliko bingi eby’okuyigirako.

Ye Oweek Mathias Mpuuga naye nga yaliko akulira okudda oluwabula gavumenti mu palamenti agamba nti obukulembeze bwa Katikkiro Mayiga kya kwenyumirizaamu kya manyi olw’emirimu gy’akoze egyongedde okusitula ekifaananyi kya Buganda n’embeera n’abantu naddala nga benyigira mu nteekateeka ezirwanyisa obwavu.

Katikkiro Charles Peter Mayiga, erinnya buli lwe lyogerwako, abamumanyi ebirowoozo biddukira ku ttoofaali, emmwanyi Terimba, emisinde Mubunabyaalo egya Kabaka Birthday Run, okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi, okuzimba Masengere, okutandikibwawo kwa BBS, okusitula omutindo n’ebintu ebirala bingi nga n’ebisinga kati oteeka buteesi linnya lye ku mitimbagano ne babikuyiira awo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.