Bya Gerald Mulindwa
Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda buvumiridde ebikolwa by’ettemu wamu n’okutulugunya abeesimbyewo ekintu ekivuddeko n’abantu abamu okulugulamu obulamu n’esaba bino bikome.
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asinzidde wano n’agamba nti gavumenti tesaana kumenya mateeka nga yeekwese mu kirwadde kya Ssennyiga Corona.
“Kizibu okukkiriza nti omuwendo ogulina okusasulwa olw’okwewala Ssennyiga 19 kwe kutta abantu oba okubakutulako amagulu nga bwe twalabye oba okubasiba mu makomera n’okubatulugunya.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, bw’alambise bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku mbeera egenda mu maaso mu ggwanga leero ku Lwokuna mu Bulange Mmengo.
Owek. Mayiga ategeezezza nti,
“Gavumenti egamba nti egezaako kutangira kirwadde kya Ssennyiga Corona, ekyamazima obulwadde bwa Ssennyiga Corona bwa mutawaana nnyo naye tekitegeeza nti abo bonna abatagendera ku mateeka ga kisawo balina kuyisibwa nga nsolo za ku ttale,” Mayiga bw’agambye.
Katikkiro Mayiga asabye ebikolwa ebimalawo abantu eddembe lyabwe okukomezebwa wadde nga abakuumaddembe balina obuyinza okukwasisa amateeka.
“Ffe ng’Obwakabaka twagala ddembe, twagala mirembe mu Uganda naye tetusobola kuba na ddembe nga tulaba ttemu, ttiyaggaasi n’ebikolwa eby’obukambwe.”
Kamalabyonna agambye nti ebikolwa eby’obukambwe byongera kutabangula ggwanga era nga tebiritereeza bw’atyo n’asaba gavumenti okulaba nga bikomekezebwa mu bwangu.
Avumiridde ebikolwa by’okukuba abantu abatalina kissi kyonna amasasi kubanga bino ebikolwa bya butemu.
Owek. Mayiga agamba nti waliwo abantu abaalabiddwako mu Arua ne Gulu nga bayisa ebivvulu kyokka ate ab’e Luuka ne bayisibwa obubi. Asabye wabeewo obwenkanya ku njuyi zombi.