• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga azzeemu okulabula Obuganda ku baagala okufeebya Nnamulondo

Gambuuze by Gambuuze
June 11, 2024
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga azzeemu okulabula Obuganda ku baagala okufeebya Nnamulondo
0
SHARES
35
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Kyaddondo-Mmengo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga  azzeemu okulabula abantu ba Buganda okwegendereza Bannakigwanyizi abeesomye okunafuya Obwakabaka nga babusaasaanyaako amawulire ag’obulimba.

Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abutisse Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki abuwe abantu ba Beene bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu Bannasingo ku Lwokubiri mu Bulange e Mmengo.

Owek. Mayiga bano abasabye bayambeko okumanyisa abantu ba Kabaka ekituufu  baleme okuwuddisibwa abeenoonyeza ebyabwe.

Bannabyabufuzi Mukuumaddamula abakubiriza okubeera obumu okusobola okutuusa obuwereza obulungi eri abantu ba kabaka olwo basobole okulaakulana n’okwegobako obwavu.

Ku lulwe, Owek. Kawuki yeebazizza nnyo obukulembeza bwa disitulikiti ye Kiboga olw’enkolagana ennungi n’Obwakabaka ssaako nokuwagira enteekateeka zonna ez’embuga ezigendereddwamu okulaakulanya abantu ba Nnyinimu.

Owek. Kawuki asabye abazadde okukuza obulungi abaana baabwe awatali kubawulamu olw’ekikkula kyabwe basobole okugasa eggwanga.

Omwami wa Ssaabasajja mu Ssaza Ssingo Mukwenda  Deo Kagimu   akubiriza Bannasingo okusengejja gyebajja amawulire agakwata ku bwakabaka okusobola okwerinda abesomye okubunafuya nga babungeesa engambo kunsonga ezitali zimu .

Ono banna Ssingo abakubiriza okubeera abakozi, nga banyikira mu byebakola saako n’okusomesa abaana baabwe mu masomero amalungi basobole okuvuganya obulungi munsi.

Ye Ssentebe wa disitulikiti ye Kiboga Nsiiro Gerald Kalumba yeebazizza nnyo Beene  olw’ enteekateeka z’obwakabaka zagambye nti ziyambye nnyo okutumbula embeera za bantube.

Kalumba era abasa bye okukozesa obulungi ettaka lyabwe okusobola okwekulakulanya nga balima emmwanyi okusobola okufuna ekigulira Magala eddiba.

 Ensisinkano eno yetabiddwamu abakulembeze abenjawulo ku mitendera egyenjawulo okubadde n’omubaka omukyala owa disitulikiti ye Kiboga Hon Christine Kaaya Nakimwero era Bannasingo baleese obukadde 23 okuyambako ku mirimu gy’Embuga.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist