Bya Ssemakula John
Bulange – Mengo
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde okulwanagana wamu n’ettemu eryalabikidde mukulonda akamyufu k’ekibiina ki ‘National Resistance Movement (NRM)’ ku Lwokutaano nategeeza nga kino bwabadde takirabangako.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Kamalaaa-3-1024x683.jpg)
Mayiga yategeezezza nti, “Mukulonda kw’ akamyufu ka NRM twalabye ebikolwa eby’obukambwe ate n’ettemu lyenyini. Webwazibidde jjo batugambye babadde abantu bana abafudde ate nga 25 banyiga bisago. Ekizibu kya Uganda okuviira ddala lwetwefuga kiri mukulonda munda mu bibiina nemu kalulu ka bonna.”
Okwogera bino Katikkiro Mayiga yabadde mu Bulange nga atikkula oluwalo lw’obukadde obusobye mu 13 okuva mu ggombolola ezivudde e Busiro, Mawogola ne Kyaggwe ezikiise embuga enkya ya leero ku Lwokubiri.
Kamalabyonna yanyonyodde nga okulonda kwonna Uganda kwebadde nakwo bwekubaddemu obusambattuko n’okuyiwa omusaayi wadde nga eby’entalo byaggwa.
Mayiga yalabudde ku fujjo nga okukuba abantu nga ente, okugaba ssente, n’okukozesa eryanyi ly’ emmundu mu bifo ebyabadde bironderwamu.
Ono yajjuliza nga abakulembeze okwali Milton Obote bweyakola emivuyo nalumba n’olubiri olw’okutya akalulu era nga n’ekitta bantu ekyali e Luweero kyaliwo lwa kubba kalulu.
“Ensonga eno esukka ku NRM kubanga ya Ggwanga lyonna, olaba ab’ekibiina ekimu beeyisa batyo olwo kinaaba kitya nga bavuganya nabe bibiina ebirala?” Mayiga bweyabuuzizza.
Katikkiro yasabye abaleese oluwalo okukimanya nti olugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko lwabwe bonna nga abaganda era nabasaba okwettanira puloojekiti za Buganda nga emmwanyi terimba basobole okwekulaakulanya.
Yalaze nga bwebatayinza kutuula kulinda Federo kubanga waliwo obwetaavu bw’okukola okusobola okutwala emirimu gya Buganda mu maaso kubanga Obugagga ntuuyo era buli muntu ali mukwerwanako.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Kamala-byonna-1-1024x683.jpg)
Ate yye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki yakubiriza, abaami ba kabaka okutwala mu maaso emirimu gya Kabaka mu kiseera kino nga ssenyiga corona akyasoomooza ensi.
Omwami w’essaza lya Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiiriza, yasabye Kamalabyonna okukoma ku bakulembeze ku mitendera egy’enjawulo abatandise okwerumaaluma ate nga bonna bali muntu omu.
Abaami be ggombolola ezikiise embuga okubadde ssaabaddu mateete, Ssaabaddu Ngogwe, Musaale Ssisa, Mutuba V Nakiwogo ne Ssaabaddu Kigungu baloopedde Kamalabyonna nga ekibbattaka n’okusanyawo obutondebwensi bwebisusse mu bitundu byabwe.
Mu bakiise embuga mubaddemu n’ eyeegwanyiza okukiikirira Busiro South mu Palamenti Paul Owor ne Shanita Namuyimbwa (Bad Black) era nga bano baguze ne Satifikeeti za Buganda.