Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde ekiwambabantu ekisusse mu ggwanga era n’asaba abantu abawambibwa bakwatibwe mu bwerufu era bwe babaako omusango gwe bazza basimbibwe mu mbuga z’amateeeka.
Bino Katikkiro yabyogeredde mu Lukiiko lwa Buganda olwatudde ku Mmande bwe yabadde ayogera ku bigenda mu maaso mu ggwanga nga bw’eri enkola y’Olukiiko.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/03/Katikki.jpg)
“Mu Uganda eya kaco kano, abantu bakyakwatibwa ne bawambibwa. Nalaba ebifaananyi ky’omwana nga bamuggyeemu enjala, musango ki oguggyisaamu omuntu enjala bannange?” Katikkiro Mayiga bwe yabuuzizza.
Owek. Mayiga yasabye, abantu abateeberezebwa okubeera abazzi b’emisango ababanonye basooke kubeeyanjulira olwo bakwatibwe era bategeezebwe emisango gye bavunaanibwa era n’ababakwata babeere n’ebiboogerako.
Ku nsonga y’ebintu Buganda by’ebanja Gavumenti, Katikkiro Mayiga asabye Buganda esasulwe obuwumbi 51 Gavumenti bwe yali esuubizza okusasulwa mu 2018/19 ne 2019/20 kuba ku zino Buganda yafunako obuwumbi 13 bwokka.
Katikkiro Mayiga era yasinzidde mu Lukiiko luno n’avumirira abantu abatandise okutabikiriza eby’obufuzi mu nteekateeka z’Obwakabaka ng’Emmwanyi Terimba n’agamba nti kino kirina okukoma kuba enteekateeka eno yaakununula bantu banaku.
Mu ngeri yeemu, Mukuumaddamula Mayiga yalabudde abantu abakozesa obubi omutimbagano n’asaba abantu okubeegendereza kuba bano baliko omuntu abasasula balemesa emirimu okutambula mu Bwakabaka.
” Abantu ne muddawo ne mubika Ssaabasajja Kabaka ne Kabaka yennyini n’atuuka n’okyogerako! Kabaka abeewuunya. Mwegendereze nnyo bamuloddokaayi nkuuwe.” Owek. Mayiga bwe yalambuludde. Katikkiro Mayiga yavumiridde n’ebikolwa ebityoboola Obuwangwa wamu n’Ennono mu mikolo naddala okwanjula era yasabye ababikola okweddako era abakiise ab’enjawulo baavumiridde ebikolwa bino ne basaba wabeewo ekikolebwa mu bwangu.
“Abantu batyobodde nnyo Ennono yaffe ku mikolo egy’okwanjulwa. Abantu ne bentinkuula mu ngeri eswaza ennyo. Obulenzi bu katumwa ne bwekola ebintuntu. Omuko ayanjuddwa n’adda mu kwentinkuula olwo bakutende batya?” Mayiga bw’agasseeko
Omu ku bakiise era Ssaabagunjuzi w’ekisaakaate kya Maama Nnaabagereka, Omuk. Rashid Lukwago, yategeezezza nti ebikolwa bino byoleka ekifaananyi ekikyamu era bivudde ku kukoppa n’okutabikkiriza eby’obuwangwa ky’agambye nti kikyamu.
Olukiiko luno luliko ebiteeso bye lwasembye nga kuno kuliko; ensonga ya Federo, okusiima Nnamuswa Ssaabasajja Kabaka, okuvumirira ekiwambabantu, okukomya okutyoboola ennono mu kwanjula wamu ne nnongoosereza ezaayisiddwa mu mateeka agafuga Olukiiko luno.