Bya Ssemakula John
Butoolo – Mawokota
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye abantu abalina we basobola okulima emmwanyi, okuzinoonya bazirime awo Obwakabaka we bujja okubasanga nga balina we batuuse, kibayambe okweggya mu bwavu.
Bino Kamalabyonna Mayiga abyogeredde Butoolo ku mbuga y’essaza ly’e Mawokota bw’abadde atongoza enteekateeka y’okusimba emmeresezo (Nursery Bed) ku mbuga z’amasaza ag’enjawulo, okusobola okutumbula ekirime kino.
“Tetwagala bantu kutuula awo batulindirire okubafunira endokwa, ggwe alina ettaka weefunire endokwa okusinziira ku busobozi bwo otandike omulimu gw’emmwanyi osobole okwezza ku ntikko, temulinda byakuweebwa. Endowooza y’abantu okulinda eby’okuweebwa bye bimu ku bitukuumidde emabega.” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.
Owek. Mayiga asabye abantu okweggyamu okwenyooma, batandike kuba kisoboka era abasabye okutandika okwekolerera kuba tewali muntu asobola kubawa buwi ne bagaggawala. Ayongeddeko nti omuntu eyalima emmwanyi asobola okutandika okukwata ku ssente mu bbanga lya myaka ebiri gyokka.
E Butoolo, Katikkiro Mayiga ayaniriziddwa Kayima Gabriel Kabonge amulambuzza embuga y’essaza n’ebikoleddwako okugikulaakulanya omuli; olusuku olugudde akaleka, emmwanyi, omusiri gwa kasooli olusuku lw’embidde ssaako ennyumba enkadde ezirindiridde okuddaabirizibwa ku mbuga eno.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, mu enteekateeka eno ey’Emmwanyi Terimba, obungi bw’emmwanyi eziwera obukadde 10 ze zigabiddwa eri abantu ba Kabaka nga zino ziteekeddwa ku bugazi bwa yiika 14000.
Ono abafunye emmwanyi zino abasabye okuzirabirira obulungi zibayambe okweggya mu bwavu n’okuzza Buganda ku ntikko.
Minisita omubeezi ow’ebyobulimi n’obwegassi mu Buganda, Owek. Hajji Hamis Kakomo akubirizza abantu ba Kabaka okwettanira okulima emmwanyi, basobole okwebbulula mu ddubi ly’obwavu.
Omwami akulembererako essaza lino, Kayima Gabriel Kabonge abuulidde Katikkiro ebituukiddwako okuva Ssaabasajja lwe yasiima amukulemberereko essaza Mawokota mu mwaka gwa 2019.
Enteekateeka eno egenda kutandikira mu masaza ga Buganda agawera 7 okuli; Mawokota, Gomba, Buddu, Busujju, Kyaggwe, Busiro ne Butambala n’oluvannyuma yeeyongereyo mu gasigadde nga zigenda kugabibwa eri abalimi basobole okwekulaakulanya.