Bya Ssemakula John
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga atongozza enteekateeka y’okwegemesa okw’ekikungo okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona era kisobozese eggwanga okuggulwawo mu bujjuvu awamu n’okutumbula embeera z’abantu ba Kabaka.
Omukolo gubadde ku mbuga enkulu mu Bulange – Mmengo ku Lwokubiri era Katikkiro asinzidde wano n’asaba abantu okwegemesa kuba Buganda okudda ku ntikko yeetaaga abantu nga balamu.
“Twagala okugumya abantu mu Buganda nti eddagala erigema teririna kabi. Okusookera ddala Ssaabasajja Kabaka wa Buganda mwalaba nga agemebwa, mwalaba Katikkiro ng’agemebwa. Eddagala oba lya Astra Zenac oba lya Pfizer tewali ligenda kubalemesa kuzaala.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Ono asabye abantu wonna okugoberera amateeka agateekebwawo abasawo okusobola okwetaasa ekirwadde kino kuba wadde bingi ebyogeddwa okuzimba Obuganda naye ek’obulamu kye kisinga obukulu.
“Tosobola kuzimba Buganda okuggyako ng’abantu balamu era nkakasa nti omuntu omukulu ali mu mulembe Omutebi, kizibu okuba nga tannaba kutegeera nsonga za byabulamu n’okuzza Buganda ku ntikko. Tosobola kuzimba Buganda okuggyako ng’abantu balamu, Lumiimamawuggwe tasosola.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Katikkiro Mayiga agamba nti kituufu waliwo abantu abafuna akasujja oluvannyuma lw’okubagema naye kino tekirina kubatiisa kuba buli omu eddagala limuyisa bubwe. Ono annyonnyodde nti okwegemesa kye kintu ekisaanidde okukolebwa abantu bonna abagezi kuba wadde obulwadde busobola okumukwata naye ate tebumuyisa bubi era tafa.
Kamalabyonna asiimye aba Medical and Molecular Labarotories olw’okuwaayo obukookolo obuwera omutwalo mulamba okuyambako abantu okwetangira ekirwadde kino era n’asaba abantu okulya obulungi kibayambe okuzimba obusobozi bw’emibiri gyabwe okulwanyisa ekirwadde kino era batumbule n’obuyonjo.
Ye Ssenkulu w’ekitongole kya Buganda ekya Majestic Brands, Omuk. Ronald Kawadwa ategeezezza nti emu ku ensonga lwaki baasalawo okwegatta ne Uganda Breweries okugema abantu, kwe kuba nti ebintu by’Obwakabaka ng’Engule byali biserebye olw’abantu obutasobola kukung’aana na kusanyuka nga bwe gwali emabegako nga singa abantu beegemesa mu bungi, eggwanga lijja kuggulwawo.
Omukungu okuva mu Uganda Breweries, Jackie Tahakanizibwa agambye nti abantu ba Kabaka bafunye omukisa okwegemesa awatali kusimba nyiriri wadde okusindikagana bw’atyo n’asaba abantu okuvaayo mu bungi eggwanga lisobole okuggulwawo.
Enteekateeka eno ewagiddwa aba Uganda Breweries, ekitongole kya KCCA, Private Sector Foundation Uganda, Coca Cola ne Medical and Molecular Labarotories nga yaakubeerawo ku wiikendi eno nga 6 ne 7 November mu bimuli bya Bulange.