• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Mayiga atongozza Bboodi y’ebyobulambuzi

Gambuuze by Gambuuze
January 5, 2021
in Agafa e Mengo
0 0
0
Katikkiro Mayiga atongozza Bboodi y’ebyobulambuzi
0
SHARES
58
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Bulange

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye abantu ba Kabaka okwettanira okumanya ebyobulambuzi ebikwata ku buwangwa, basobole okukuuma wamu n’okumanya n’okutegeera ennono yaabwe.

Katikkiro Mayiga n’olukiiko lwa Bboodi y’ebyobulambuzi empya

Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mu Bulange, Olwaleero bw’abadde atongoza bboodi  y’ekitongole kya ‘Buganda Heritage and Tourism Board,’ egenda okukulirwa Omuk. Benon Ntambi omutandisi wa Royal Giant High school e Mityana.

“Tetusobola kuba ggwanga nga tetukuuma nnono n’obuwangwa bwaffe, awo tuba twerimba ky’ova olaba bw’obeera omukkiriza, omukatuliki, bakusuubira okugenda mu Eklezia, omusiraamu mu Muzikiti kuba ke kabonero akalaga ky’oli.” Owek. Mayiga bw’agambye.

Owek. Mayiga agambye nti akunze bannayuganda okugondera ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka nga bakuuma ebifo eby’enkizo eby’obuwangwa.

Ono alaze obukulu bw’ebyobulambuzi eri enkulaakulana y’ensi, n’ategeeza nti okunoonyereza kulaga nti eby’obulambuzi byokka biwa abantu abasoba mu bukadde 50 emirimu nsi yonna.

Owek. Mayiga agasseeko nga gavumenti ya Uganda bw’efuna ensimbi eziwera akawumbi kamu n’obukadde lukaaga (1.6bn) okuva mu by’obulambuzi byokka n’asaba bboodi eyambeko Obwakabaka okuyingiza ensimbi.

Mayiga agamba nti eby’obulambuzi y’engeri emu Obwakabaka gye bujja okunywezaamu ebyobuwangwa byayo wamu n’okuwa ekifaananyi ekituufu ku by’obuwangwa n’ennono.

Katikkiro, Minisitule y’ebyobulambuzi awamu ne bboodi eno, agiwadde omulimu okwongera okukuuma, okutaasa wamu n’okutumbula ebyobulambuzi mu Buganda n’okubyagazisa abantu okuli n’abaana abato kuba ebintu ebiri wano si bikolerere.

Katikkiro abasabye bamalirire okuteeka ekiragiro kya Kabaka mu nkola nga batandikawo ekkadiyizo ( ‘Museum’,) basobole okukuuma ebiwandiiko n’ebyafaayo.

 Abasabye okulaba nga ebyobulambuzi lye limu ku makubo agalina okuvaamu ensimbi okuyimirizaawo Obwakabaka.

Mu kusooka Kamalabyonna yatongozza omutimbagano gwa Buganda Heritage and Tourism Board (https://bhtb.or.ug nga kw’otadde ne you tube channel era n’aggulawo ne woofiisi omuli ebyobulambuzi bya Buganda ebyenjawulo.

Ate ye Minisita w’ebyobulambuzi  n’ennono mu Bwakabaka, Owek. Kyewalabye Male, ategeezezza ng’ekirwadde kya Ssennyiga Corona bwe kyakosa ennyo ebyobulambuzi olw’okuba ensi yonna yali ku muggalo.

Ssentebe wa Bboodi omuggya, Omukungu Benon Ntambi, asiimye Nnamunswa olw’okubalengera n’abawa obuvunaanyizibwa buno era n’awera okubutuukiriza.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.